Omuntu okuyingira eggulu oteekeddwa okutegeera ebiri mu kubikkulirwa kwa Katonda'

Apr 21, 2024

SSENTEBE w’ekkanisa ya Shincheonji okuva e South Korea, Lee Man-hee ali mu kutalaaga mawanga ng’abunyisa enjiri ey’okubikkulirwa n’okutegeeza abantu eby’amagero by’alabye n’okufuna.

Omuntu okuyingira eggulu oteekeddwa okutegeera ebiri mu kubikkulirwa kwa Katonda'

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

Bya Musasi waffe

SSENTEBE w’ekkanisa ya Shincheonji okuva e South Korea, Lee Man-hee ali mu kutalaaga mawanga ng’abunyisa enjiri ey’okubikkulirwa n’okutegeeza abantu eby’amagero by’alabye n’okufuna.

Okuyita mu nteekateeka eno, ali mu lukung’aana lw’enjiri ku ssemazinga wa Asia e Philippines lwe yatuumye Shincheonji’s Bible Seminar.

Kino akikoze ng’asimbuliza essuula okuva ku 1 - 22 mu kitabo ky’okubikkulirwa nga bw’annyonnyola abantu abeetabye mu lukungaana engeri gy’alabyemu n’okufuna okubikkulirwa.

Musajja mukulu ono akunukkiriza emyaka 90 ye ssentebe w’ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, the Temple of the Tabernacle of the Testimony annyonnyodde abeetabye mu musomo mu ngeri ekakasa nti n’omwana omuto eyeetabyemu amanya amakulu agali mu kubikkulirwa.

Akyalidde Abafiripino omulundi ogwa 20, kino akikoze nga April 20, 2024 ng’abadde yasemba kugendayo mu 2013.

Eno gy’ategeerezza nti enteekateeka eno omwaka guno agitandikidde mu Asia bw’avaayo waakutalaaga ebitundu by’ensi ebirala okuli; Bulaaya, Africa, America, Oceania, b’amalirizza adde mu Asia omulundi ogw’okubiri.

Yabeeyanjulidde nti yazaalibwa 1931 mu ssaza ly’e Cheongdo, Gyeongsangbuk-d South Korea era ssematalo ow’okubiri amujjukira nga Korea efuuka ettwale lya Japan.
Ng’afuna okubikkulirwa Katonda yamulaga okwolesebwa. Yasooka kusinza nsozi wabula olw’okubikkulirwa kwe yafuna kwe kutandika ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus.

Akiggumiza nti okubikkulirwa okuli mu ssuula ze yamenye azze akulabako mu myaka gy’alina era kwakolebwa Yesu.

Annyonnyodde nti omuntu okuyingira eggulu alina okukakasa nti atuukirizza ebituufu ebiri mu kubikkulirwa nga Katonda bw’abirambika. 

Agamba nti ensi eri mu tulo abantu tebakimanyi oba ebiri mu kubikkulirwa bituukirizibwa nga Katonda bwe yabirambika. Yabyogedde nga bw’asimbuliza mu Kubikkulirwa 22:18-19.

Akubirizza abantu nti basaana bawandiike ebigambo bino mu mutima bikwatiremu. Abafunye omukisa okugaba ku bikulu bino beebo 144,000 abasigadde balina okukolerera ennyo eggulu okulaba nga teribasuba.

Yasooka kugenda mu ggwanga lino mu nteekateeka y’okuzza emirembe ng’ayita mu kibiina ky’obwannankyewa ekiri ku mutendera gw’ensi yonna ekya HWPL (Heavenly Culture, World Peace, Restoration of Light) era ye sentebe wakyo.

Omwaka gwa 2020 ng’esi eri ku muggalo gwa COVID-19, baategeka enkung’aana ku mikutu gya yintanenti basobole okusigala nga batwala mu maaso enteekateeka z’okubunyisa okubikkulirwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});