Abavubuka bakubiriziddwa okwettanira pulojekiti za Gavumenti

Aug 29, 2023

KATIKKIRO wa Ugnda Robinah Nabbanja awadde abavubuka amagezi okwewala okuwubisibwa bannabyabufuzi ababasindika mu bikolwa eby'okwekalakaasa n'abasaba okwenyigira mu nkola za Gavumenti ez'okulwanyisa obwavu. 

Hajati Minsa Kabanda ng'ali n'abakungu b'ekkanisa ya Shincheonji ku lunaku lwabwe olw'emizannyo

Kiragga Steven
Journalist @Bukedde
KATIKKIRO wa Ugnda Robinah Nabbanja awadde abavubuka amagezi okwewala okuwubisibwa bannabyabufuzi ababasindika mu bikolwa eby'okwekalakaasa n'abasaba okwenyigira mu nkola za Gavumenti ez'okulwanyisa obwavu. 
 
 
Bino byabadde  mu bubaka bweyatisse minista w’ensonga za Kampala Hajjat Minsa Kabanda ku mukolo gw’ebyemizannyo ogw'ategekeddwa ab’ekkanisa ya Shincheonji church of Jesus.
 
Nabbaja yategeezezza nti Gavumenti eleese pulojekiti ez'okuggya abantu mu bwavu gamba ng'Emyooga ne Parish Development model. 
Minsa Kabanda ab'ekkanisa ya Shincheonji

Minsa Kabanda ab'ekkanisa ya Shincheonji

 
Yagasseeko nti abavubuka balina okwesamba okukozesa ebiragalalagala kuba bino byonoonye nnyo ebirooto bya bavubuka bangi nga n'abamu bavudde mu masomero,okutabuka omutwe ssaako abamu okwenyigiza mu bikolwa by’obumenyi bwa mateeka.
 
Yasiimye nnyo abaddukanya ekkanisa ya Shincheonji olw’okusitula embeera za  bavubuka nga bayita mu kubabangula mu bya bbayibuli,okutendekwa eby'emikono okubayamba okweyimirizaawo n'akinogaanya nti kaweefube ono wakusitula eggwanga naddala embeera za bavubuka.
 
Minista Kabanda naye yabasiimye  olw’okusitula eby'emizannyo ssaako  ebitone bya bavubuka kuba kino kibayamba okubeera n’obulamu obweyagaza saako okutangira endwadde nga ez’omutima ne puleesa .
 
 
Wano Milton Mukisa omu ku bakulembeze b’eKkanisa eno mu Uganda yakinogaanyizza ng'abavubuka bano bwebabangulwa ku ngeri y’okubeera obumu ssaako okubeera emirembe ne bannaabwe mu kifo ky’okulowooleza mu bikolwa byefujjo ebitattana embeera za bavubuka

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});