Sseninde asabye bannadiini okuyamba okulungamya abavubuka

Mar 25, 2024

SSABAKUNZI w'ekibiina Kya NRM Rose Mary Ssenninde avuddeyo n'asaba abakulembeze b'eddiini okubakwatizaako mu kulungamya abavubuka naddala abakozesa obubbi social media kuba bangi bavudde ku mulamwa.

Sseninde asabye bannadiini okuyamba okulungamya abavubuka

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
 
SSABAKUNZI w'ekibiina Kya NRM Rose Mary Ssenninde avuddeyo n'asaba abakulembeze b'eddiini okubakwatizaako mu kulungamya abavubuka naddala abakozesa obubbi social media kuba bangi bavudde ku mulamwa.
 
Bino Ssenninde abyogedde atongozza kaweefube w'okugaba omusaayi ka kkanisa ya shincheonji church of Jesus e Nansana waategeerezza nga abavubuka bangi bwebawubisibwa social media nga Kati buvunanyizibwa bwabuli omu okulaba nga eggwanga likula.
 
Sseninde wano wasiimidde abavubuka abajjumbidde okugaba omusaayi n'akinogaanya nga bano bwebayambye okutaasa obulamu naddala obwa bafuna obubenje ssaako abakyala abazaala.
 
Ono era asabye bannayuganda bonna okubeera be mwoyo gwa gwanga era bayambeko pulezidenti museveni mu kulwanyisa enguzi esessedde ebitongole ebyenjawulo omuli na batuuka okutunda omusaayi ekimenya amateeka.
 
Wano Kim Eun Pyeong atwaala ekkanisa eno mu Uganda wasinzidde n'ategeeza nga bwebasalawo okunnyikiza okugaba omusaayi okulaga ekifananyi ekituufu ekya yesu kuba omuntu akuwa omusaayi abeera akuwadde bulamu.
 
Samuel Wante akulembeddemu team y'ekitongole kyo musaayi ategezezza nga bwebasobodde okukungaanya units 800 era nasiima nnyo abaddukanya ekanisa...

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});