Aba Shincheonji basiimiddwa olwa kaweefube w'okutaasa obulamu bwa bannayuganda

Jun 20, 2023

SSENTEBE wa divizoni ye Nansana Ssaalongo Joseph Matovu atenderezza bannadiini abafubye okukola ebintu ebiyamba abantu awatali kusosola naddala kaweefube w’okugaba omusaayi kyagamba nti kyongera okulaga omwoyo gw’obwa sseruganda .

Abantu nga bali ku kknisa ya Shincheonji

Kiragga Steven
Journalist @Bukedde

SSENTEBE wa divizoni ye Nansana Ssaalongo Joseph Matovu atenderezza bannadiini abafubye okukola ebintu ebiyamba abantu awatali kusosola naddala kaweefube w’okugaba omusaayi kyagamba nti kyongera okulaga omwoyo gw’obwa sseruganda .

Bino abyogeredde ku kkanisa ya Shincheonji  e Nansana nasiima abagiddukanya olw’okuteekawo kaweefube w’okukunga abantu okugaba omusaayi era ne kujjumbirwa kyagamba nti kino kyakuyamba okutaasa obulamu bwa bantu abali mu bwetaavu bw’omusaayi...

Okugaba omusaayi kuno kwategekeddwa abavubuka mu kibiina kya Shincheonji Youth Volunteer Group We Are One Uganda.

Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus ezze etegeka okugaba omusaayi nga bakolera wamu ne Nakasero Blood Bank.

Abantu nga bagaba omusaayi

Abantu nga bagaba omusaayi

Matovu yalabudde abasawo abakyagenda mu maaso n’okutunda omusaayi okukikomya kuba kino kikolebwa mu bumenyi bwa mateeka nga nabamu bwebalemererwa okusasula ssente z’okufuna omusaayi oluusi baffa.

Davis Samuel Wante eyakulembeddemu tiimu okuva ku Blood bank e Nakasero wasinzidde nalabula abaami naddala abalina obunafu munsonga z’ekisenge okwewala okugula eddagala lyebabalimba nti libongera ku maanyi wabula nga eddagala etuufu kubeera kugaba musaayi omubiri ne gutambula bulungi.

Yagasseko nti omusaayi bwegusukka obungi mu mubiri gw’omuntu gumuviirako okulumwa omutwe,okunafuwa munsonga z’ekisenge bagabe ku musaayi kubanga bwe gubeera omungi gukosa.

Yasiimye sentebe w’ekanisa eno munsi yonna Man Hew Lee gwagamba nti afubye okunyikizza obumu n’okwagalana okuzimba obwa sseruganda.

 

Kim Eun Pyeong ow’ekkanisa yategeezezza nti babadde bagaba omusaayi okwetoloola ensi okuva owmwaka oguwedde bakungaanyizza Unit z’omusaayi 70,000.

Lt-Col.Richard Kukundakwe omu kubawomye omutwe mu kugaba omusaayi wasabidde abantu okunyweeza omwoyo gw’eggwanga n’okwagala eggwanga lyabwe mu buli mbeera era bafube okulaba nga ligenda mu maaso mu byenkulakulana okugasa abantu bonna.

Abamu kubagabye omusaayi wano webategerezza nga bwebeyongedde okubanguka ku bukulu bw’okugaba omusaayi nti nagugaba aganyulwamu era wano abantu abasoba mu 500 bagabye omusaayi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});