Omulamuzi asindise bannamawulire e Luzira ku by'okufulumya eggulire mu bukyamu

Dickson Ashley Musiru 40 ne Alirabaki Sengooba 30 be basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road n’abasindika e Luzira.

Omulamuzi asindise bannamawulire e Luzira ku by'okufulumya eggulire mu bukyamu
By Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
#Kkooti #Mulamuzi #Mawulire #Bukyamu

Bannamawulire babiri basibiddwa lwa kufulumya mawulire okuyita ku mutimbagano nga tebalina lukusa okuva mu kitongole ky’ebyempuliziganaya ekya Uganda Communications Commission).

Sengooba Mu Sweeta Elina Obukuubo Ne Mubiru Ayambadde Galubindi (2)

Sengooba Mu Sweeta Elina Obukuubo Ne Mubiru Ayambadde Galubindi (2)

Dickson Ashley Musiru 40, omutuuze w’e Kauga mu munisipaali y’e Mukono ng’akola nga akulira ekitongole ekikola mu kufulumya amawulire ne Alirabaki Sengooba 30, omutuuze w’e Kyanja Kitala mu divizoni y’e Nakawa mu disitulikiti y’e Kampala nga musasi wa mawulire be basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road n’abasindika e Luzira.

Kigambibwa nti ababiri baawandiika eggulire, wansi w’omutwe ogugamba nti, “How top legislators Shared $5millon Vitol oil Deal”,  ekivvuunulwa nti, “Engeri ababaka ba palamenti gye beegabanyaamu obukadde bwa ddoola 5 eza ddiiru ya mafuta.

Eggulire eddala lyali ligamba nti "lawyer Kabali Justice Nkonge Clash over  court case file" ekivvuunulwa nti, “Munnamateeka Kabali akubaganye empawa n'omulamuzi Nkonge ku ffayiro ya kkooti.”

Emisango gino gyonna bano baagyegaanye era omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze yategeezezza kkooti nga okunoonyereza ku misango kukyagenda mu maaso. Omulamuzi abawadde olunaku lwenkya okusaba okweyimirirwa.