Okusinzittuka n’ogwa wansi, kintu ekisobola okutuuka ku buli muntu essaawa yonna. Osobola okugwa ng’odduka, oba nga waliwo ekintu ekikuteze, okuseerera ku seminti oba mu bisooto mu budde obw’akaseerezi.
Oyinza okufuna obuvune obutonotono oba obw’amaanyi ennyo, okusinziira ku ngeri gy’oba oguddemu, n’ekifo w’ogudde.
Omukutu gwa https://firstaidforlife.org.uk kugamba nti erimu ku ddagala lye tumira, nalyo liyinza okukuleetera kamunguluze ne weekanga nga werindiggudde ennume y’ekigwo.