OKUGULA mmotoka yo esooka kulimu ebigezo bingi era obutafiirwa ssente, olina okwegendereza olwo lw’ofuna mmotoka ng’eri mu mbeera nnungi.
Joseph Kasozi makanika ku Auto Guarge e Makerere agamba nti agula mmotoka mu bibanda yandigenze ne makanika gwe yeesiga agyekebejje, oleme kugifunamu buzibu.
Mu by’olina okugenderera mulimu:
lEmmotoka ezimu yingini zijja zikooye. Agenderere oba ebyuma byonna mwebiri kuba oluusi bibbibwa ng’eri mu bbondi, amafuta g’enywa sikulwa ng’ekulemerera okugitambuza olw’okuba enywa nnyo.
Emu Ku Mmotoka Empya Ezeetaaga Endabirira Ennungi Obutakutawaanya.
lObungi bw’amafuta g’enywa Emu ku mmotoka enkola empya ezeetaaga endabirira ennungi obutakutawaanya. businziira ku CC. Zino zitandikira ku 900 n’okudda waggulu naye buli lwe zeeyongera waggulu n’obungi bw’amafuta.
lSipeeya waayo alina okuba ng’alabika mu ggwanga.
lErina okuba nga bamakanika ba wano basobola okugikanika.
lLaba oba esobola okutambulira ku nguudo zaffe.
lWeegendereze bakayungirizi b’osanga okumpi ne we batunda mmotoka mulimu abatayogera mazima ne bakuguza emmotoka enfu.
lFaayo okulaba ng’osasudde omusolo omutuufu. Aba bbondi bayinza okusasulayo entono ne bakukwata ng’ovuga olw’ebbanja.
lLaba ku kkaadi yaayo oba eri mu mannya amatuufu.
lTogula mmotoka ng’erimu ekigwo.
lGgwe ayagala okugulira ku yintaneeti, kakasa nti omukutu kw’ogenda okugulira emmotoka nti mutuufu.
Kirungi ogule ku kkampuni ezirina ofiisi mu Uganda. Mmotoka gy’ogulidde ku yintaneti, eba ya bbeeyi ntono era ogigula omanyi nti teriiko kwemulugunya nti eyinza okuba enzibe. Kyokka eyinza okutuuka wano nga yingini nfu oba tosobola kwemulugunya kuba gy’oba wasiima.
Wandibadde ogula ku kkampuni erina ofiisi mu Uganda, kuba osobola okubeebuzaako n’ofuna akawunti entuufu kw’ossa ssente. Kkiriza mmotoka yo kkampuni eyo y’eba egitambuza okutuuka e Kampala, kikuyamba obuzibu
bwonna bw’efuna be baba bavunaanyizibwa.