Mu biseera by’enkuba, omuvuzi w’emmotoka alina okulabirira emipiira obulungi obutafuna buzibu.
Tonny Ssendagire, makanika agamba nti, mu biseera by’enkuba emipiira gyonooneka nnyo olw’amazzi agatambuza kasasiro.
Buli muvuzi wa kidduka kyandibadde kirungi nga tannagula mipiira n’asooka akola okunoonyereza ku kika ky’omupiira ky’agenda okugula kuba waliwo emijingirire nga bw’ogugula gukolayo akaseera katono nga gwonooneka.
Omuvuzi mu biseera by’enkuba weegendereze awayita mukoka. Muyinza okubaamu emisumaali egifumita emipiira.
Ssinga omupiira gwabika, genderera engeri gye baguddaabiriza. Ssinga bagukola bubi kyangu okwabika ng’ovuga oluusi n’ofuna n’akabenje oba okuddamu okwonooneka mu bbanga ettono.
Bw’oba otutte mmotoka okugisiba omupiira tokkiriza kiyiso. Baba balina kugusibira munda kuba ebiyiso buli lw’okikuba mu mupiira kigwonoona. Ekiyiso ebiseera ebisinga kimanyi okuta omupiira ne guvaamu omukka. Enkola eno etera okukozesebwa ku mipiira egitagendamu ‘Tube’.
Ddereeva w’emmotoka olina okugenderera omukka oguli mu mipiira. Buli lw’ossaamu omukka omutono kiyinza okuvaako akabenje oba bweguba gusukkiridde omupiira guyinza okwabika.
Buli lw’omala ebbanga nga omwezi ng’emmotoka togitambuza, omutindo gw’omupiira guddirira.
Emipiira gyonooneka kuba waya ezibeera munda zeefunya olw’okuba zibadde mu kifo kimu okumala ebbanga.