Omusumba Umar Mulinde owa Gospel Life Church International e Namasuba atandise n'amaanyi mu kaweefube gwaliko okugenda mu Palamenti okukiikirira abantu be Kassanda North mu kisanja kya 2026.
Mulinde yatongozza kakuyege we olunaku olw'eggulo ku kisaawe kye Kamuli ekisangibwa e Kassanda. Mulinde nga tannagenda weyakubye olukungaana yasoose kuyita mu byalo ebiwerako nga akulembeddwa abavubuka abavuga bodaboda wakati mu luseregende lwemmotoka okwetolola ebyalo byonna ebikola kassanda North.

Musummba Mulinde ng'awuubira ku bantu
Yatandikidde ku kyalo Wakayiba nga buli gyayita agenda awuubira ku bantu nokubasuulayo obugambo obubasaba akalulu. Wabula bweyatuuse mu town ye Kikandwa abantu abamugoberera beeyongede naddala abakyala okutuusa bwebaamutuusizza ku kasaawe ke Kamuli weyakubye olukungaana gagadde.
Eno Mulinde yeegatiddwako abakulembeze ba district ye Kassanda ku mitendera egyenjawulo okwabadde ne ssentebe wa LC1, bannadiini okuli abasiraamu nabalokole.
Eno mungeri eyeewunyisizza abantu yengeri Bishop David kiganda owa Christianity Focus Ministries mu ndeeba gyeyegasse ku bakakuyege be olwo enduulu nesaanikira ekifo.
Kiganda yatenderezza abantu be kassanda olwokuvaayo mu bungi ne bawagira omusumba Mulinde gweyayogeddeko nga agenda okuleeta enkulakulana mu kitundu kyabwe.

Musumba Mulinde ng'asaba abantu akalulu
Kiganda yasabidde Mulinde essaala nga ali wamu nabasumba abalala eyokumuyamba okuwangula akalulu ke kassanda North.
Mulinde avuganya ne munnakibiina kya NUP Patrick Nsamba Oshabe omubaka aliko ne Kamulegeya owekibiina kya NRM.
Mulinde yakuutidde abavubuka be kassanda okumulonda abasakire mu mawanga ga bulaaya nokubaleetera enkulakulana eyomuggundu.
Yalangidde nsamba okuvuma president Yoweri Museveni buli wakwata omuzindaalo mukifo kyokumutuukirira namubuulira ebizibu byabantu baakiikirira.
Kkampeyini zababaka ba palamenti zaatandise wiiki eno nga zaakumala emyezi ebiri okutuusa January omwaka ogujja