EMMOTOKA yonna okugaana okusiba kya bulabe nnyo era omuntu teyandisimbudde mmotoka yonna kugiteeka ku luguudo nga erinamu obuzibu mu kusiba.
Yasin Lusiba, makanika ku Agaati Garage e Luzira agamba nti emmotoka okugaana okusiba kiva ku bintu eby’enjawulo era singa wabaawo akabonero konna omugoba k’afuna nga kayinza okulemesa emmotoka okusiba yandibadde adduka mangu mu garagi bakikanike. Sisitimu y’emmotoka okusiba, ebyuma eby’enjawulo bibeera birina okukolagana obulungi era singa ekimu ku byo kigaana okukola kitegeeza nti emmotoka tejja kusiba.
ENGERI SISITIMU YA BULEEKI GY’EKOLAMU
Sisitimu eno etandikira munda mu mmotoka nga omugoba alinnya ku Pedo (pedal) nga eno esindika ‘Break fluid’ nga ono atuula mu Master Cylinder esangibwa ku Savo. Buli omuntu lw’alinnya ku buleeki esindika Savo, n’esindika Master Cylinder olwo yo n’esindika break fluid okuyita mu nseke ezituuka ku ‘Kalipa’ etuulako buleeki olwo nazo ne zisiba. Break fluid alina kubeera munda mu nseke era singa wabeerawo embeera yonna nga takyatambula bulungi kitegeeza
sisitimu y’okusiba ebeera efudde.
EBIGAANA BULEEKI OKUSIBA
Okuyisa kwa break fluid: singa break fluid abeera alina w’ayisizab okugeza nga oluseke olumutambuza luzzeeko akatuli, kitegeeza ntiabeera takyatuuka bulungi gy’alina
kulaga mu kigero ekituufu nga kino kiviirako emmotoka okulwawo oba okugaana okusiba.
Okuggweerera kw’ebiziyiza: Emmotoka buli gy’ekoma okusiba, n’ebiziyiza gye bikoma okuggweerera kubanga okusiba kw’emmotoka ebiziyiza bibeera birina okwekuuta ku disiki. Ekiziyiza gye kikoma okuggweerera ekiseera kituuka nga tekikyakwata. Buleeki embi: omuntu asobola okuteekako buleeki nga mpya naye nga si za mutindo, zino zisobola okuleetera ebiziyiza bino okugaana okukwata obulungi ekiremesa emmotoka okusiba.