Bannakibiina kya Democratic Front (DF) mu ggombolola y’e Lubaga, batongozza kkampeyini okunoonyeza abakulembeze baabwe ku mitendera egy’enjawulo abali ku kaadi y’ekibiina akalulu.
Olukungaana lw’okutongoza kkampeyini lubadde ku kitebe ky’ekibiina ekikulu e Namirembe mu Lubaga, nga lwetabiddwaako abakulembeze abeegwanyiza ebifo eby'enjawulo mu Lubaga ne Kampala omubadde n’abavudde ewala.
Omubaka wa Kimaanya Kabonera mu paalamenti era omuwanika w'ekibiina kya DF omusumba Abedi Bwanika, y’akiikiridde pulezidenti w’ekibiina owek. Mathias Mpuuga ng’omugenyi omukulu.

Moses Kasibante ayagala kya meeya wa Lubaga
Asoose kukulisa bakulembeze ba DF olw’obuvumu bwebayolesezza ne bavaayo beesimbewo ku bifo eby’enjuUwlo mu kibiina ekipya, kyagambye nti kyasanyusizza nyo omukulembeze w’ekibiina Mpuuga.
Asabye abawagizi okuteekamu amaanyi mu kunoonyeza abakulembeze b’ekibiina akalulu, kubanga beebaali mu struggle entuufu, abalala beenoonyeza byabwe.
N’ategeeza nti, DF ereese abakulembeze abalungi, abazimba ttiimu empanguzi, abalina obubaka obulungi era obutegeerekeka eri abawagizi ate abalina ebikozesebwa okutuuka ku buwanguzi, nga kyebeetaaga bwebuwagizi bw’abantu baasobole okuwangula kubanga balina abakulembeze abateeketeeke obulungi, abasobola buli nsonga.
Naasaba abantu obutalonda lwa kinyumo, bave mu nkola ya woolaba akabonero kano tikinga, batunuulire obusobozi, baleme kulonda bubonero, batunule mu bantu abo ababuliko, nti kubanga n’omugole ku kituuti ewa kabona wadde abeera mu kadaali omulungi ennyo, naye kawasa asabibwa okumubikkula okukakasa oba kyatwala kyekyo kyayagala.

Abakulembeze ba DF nga banyeenya ku galiba enjole mu kutongoza kampeyini
Alaze bannalubaga ttiimu kabiriiti ey’abakulembeze ba DF okuli; Moses Kasibante ku kya meeya wa Lubaga, Robert Mukiibi ku ky’omubaka wa Lubaga North, Samuel Walter Lubega Mukaaku ku ky’omubaka wa Lubaga South, Salaama Nakitende ku ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kampala ne ba kansala ku mitendera egy’enjawulo mu Lubaga, naabasaba okubayiira obululu babakiikirire kubanga babekneeenyezza era nebabateekateeka bulungi okusobola embeera yonna.

Abeesimbyewo ku mutendera gwa kansala mu Lubaga ku kaadi ya DF
Moses Kasibante eyeesimbyewo ku bwa meeya bwa Lubaga agambye nti, ekikulu kyaleeta e Lubaga gwe mutwe gwe ogujjudde obwongo obuyiiya, nti kubanga Lubaga kati kyeyetaaga okuva mu bizibu byetubiddemu olw’abakulembeze abaliyo abayiwawo omubiri mu kifo ky’obwongo, naasaba banna Lubaga ku luno baleme kubuzaabuzibwa okubaguza kkapa mu kkutiya.