OMUWABUZI wa President ku nsonga ze by'obulimi ne Bonna bagaggawale Hon. Peace Rugambwa akubye enkata eddwaliro kya Rwambara health center 111 mu distulikiti ye Ntungamo bwabasakidde emmotoka ya Ambulance ey'omulembe n'agibatonera

Hon. Peace Rugambwa ng'avuga Ambulance
Hon. Peace Rugambwa yategeezezza nti yasalawo okugenda ew'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wamu n'akulira Bonna bagaggawale mu ggwanga Gen.Salim Sale h n'abasaba emotoka Eno oluvanyuma lwokulaba nga Waliwo obwetaavu ku ddwaliro lino naddala mu bakyala abazaala.

Hon. Peace Rugambwa ng'alaga ebisumuluzo by'Ambulance

Ambulance nga bwefaanana
Akulira eddwaliro lino Dr.Francis Muhumuza yebazizza mukyala Rugambwa okulumirirwa ekitundu kyabwe n'akisakira emotoka Eno egenda Okwongera omutindo ku buweereza byabwe