Dr Nyirazihabwe annyonnyola nti, olw’okuba obulwadde buno butambulira mu
mpewo, oyo azuuliddwaamu akafuba ate n’abo abamuliraanye bakuutirwa okwambala masiki buli kiseera okwewala okwongera okubusaasaanya.
Engoye z’omuntu alina akafuba zisaana okwozebwa n’eddagala eritta obuwuka ate n’ekisenge mw’asula ne kiggulwa bulungi mu budde obw'emisana ekitangaala ne kiyitamu n’empewo kiyambe okukendeeza ku bungi bw’akawuka kuba ekitangaala ky’omusana kittira ddala obuwuka obukaleeta.
Azuuliddwaamu akafuba alina okumira obulungi eddagala nga omusawo bw’aba amulagiridde ate anywe nnyo waakiri liita ssatu kiyambeko omubiri gwe ate n'okusaabulula obutwa obuba buyita mu nsigo n’ekibumba kye olw’eddagala ly’amira.
Ng’oggyeeko okumira eddagala omuntu alina akafuba akubirizibwa bulijjo okulya emmere ezimba omubiri ng’amagi, amata, ebinyeebwa, ate n’ebibala eby’enjawulo kimuyambe
okuddamu okuzimba abaserikale b’omubiri ababa banafuye, ssaako okulya emmere ereeta omusaayi nga ebijanjaalo.
OBUBONERO BW’AKAFUBA
Dr Jareme Tamale, owa Jetam healthcare services agamba nti, akafuba bulwadde obuleetebwa obuwuka ekika kya bakitiriya nga bukosa nnyo amawuggwe.
Agamba nti, newankubadde abantu bonna bali mu katyabaga okukosebwa obulwadde buno kyokka abalina akawuka ka siriimu be basinga okukosebwa
olw’abaserikale b’emibiri gyabwe okuba abanafu.
Obuwuka obulwaza akafuba bwe bumu ku obwo obutambulira mu mpewo nga busaasaana singa oyo aba akalina ayasama, akolola oba okwogera olwo empewo
eyo emuvuddemu n’enuusibwa omulala. Alaga afunye akafuba kw’omulabira:
Okwewulira nga omubiri gwonna munafu.
Okulumwa mu kifuba.
Okukolola omusaayi.
Okuwulira olusujjasujja awamu
n’okutuuyana okw’amaanyi mu budde bw’ekiro.
BY’OBADDE OBUUSA AMAASO KU KAFUBA
Dr. Kenneth Mugisha, omukugu okuva mu kitongole Kya Uganda AIDs commission agamba nti, obulwadde bw’akafuba ne siriimu batambulira wamu nga y’ensonga lwaki omuntu azuuliddwaamu akawuka ka siriimu akubirizibwa okumukebera akafuba buli lw’afuna okukolola okw’amaanyi okumala ennaku bbiri.
Kyokka wadde kiri bwekityo, akafuba kakwata n’abatalina kawuka ka siriimu naddala abo abali mu bifo eby’omugotteko, kyokka nga bwe bulabuukirirwa nga bukyali omulwadde n’aweebwa eddagala era n’agondera amateeka agamuweebwa omusawo ajjanjabwa n’awona bulungi.