Baze yanzirukako lwa kuzaala mulongo yagongobala

Okuzaala omwana aliko obulemu kigezo eri abafumbo abawerako era  be wandisuubidde okukwatira awamu  ate emirundi egisinga wabaawo alekerera munne n'adduka.

Baze yanzirukako lwa kuzaala mulongo yagongobala
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Bya FAISAL KIZZA
 
Teddy Nasimolo 33  ow'e Namakwekwe mu Mbale agamba nti bwe yazaala abalongo ng'omu yagongobala, bba n'amuddukako era atoba yekka okukuza abalongo bano kati abaweza emyaka 14.
 
Agamba: "Nalina essanyu mu bufumbo bwange ne baze Alfred Situma naye kati emyaka 13 simuwuliza nga kyava ku kuzaala balongo  Timonthy Wamono (Wasswa) ne Tonny Mukwana (Kato) abaali abalamu bulungi naye nga bawezezza omwaka Wasswa yalumbibwa obulwadde obw'amaanyi n'agongobala, yazira okuyonka nga ne bwe mmuwa emmere ensotte tagirya. 
 
Nnamutwaala mu ddwaaliro kyokka nga embeera eyongera kubijja era wano we nalabira ng'abuliddwa embeera z'omwana akula, wabula kye ssaamanya nti baze Alfred Situma kyamuyisa bubi era bwe yajja e Namatala gye twali tupangisa, yayingira bulungi okulaba omwana, wabula bwe yafuluma, yampita n'antegeeza nti amaze okwebuuza ku bakulu ne bajjajja ne bamutegeeza nti bo ku kika kyabwe tebazaalangako mwaana bwatyo era wano we yakantemera nti abo abaana si babe era ye tayinza kuba kitaawe wa mwana yagongobala. 
 
Embeera yayongera okunzitoowera nga n'ensimbi ezisasula landiroodi nali sikyazirina kwe kudda ewaffe e Magale Bumbo mu disitulikiti y'e Namisindwa. 
 
Nafuna omulimu e Nairobi ng'eno mukama wange yanzikiriza okugenda n'abaana bange, nakola emyaka 4 naye ekizibu ekyannemesa kwali kulwala kwa mwana wange nga buli wiiki nnina okubeerako mu ddwaaliro, kino mukama wange kyamukaluubirira n'ansiibula ne nzira ewaffe.
 
Nasimolo Ku Mudaala Gwe Mu Katale Ke Kikindu

Nasimolo Ku Mudaala Gwe Mu Katale Ke Kikindu

 
Nagatta ebizibu bibiri kubanga  Kato yali atandise okusoma, nga nnina okumutwala ku ssomero nga bwe ndabirira munne atawona. Najja e Mbale okwongera okuyiiya obulamu, era nafuna omudaala gw'enva endiirwa mu katale  mu Kikindu. Obulamu bwandibadde bulungi naye okulwala kw'omwana kuntwalako ssente zonna.
 
Buli lwe ntunuulira omwana wange nga talina ky'asobola kwekolera nga ku myaka 14  tasobola wadde okweriisa , kyokka nga munne kati yatudde P7 era yafunye 18 nga kati agenze mu S1 kiruma kubanga ssinga abaana bange bombi bagenda mu S1. 
 
OMULONGO KATO AYOGEDDE ENNAKU GYE BAYITAMU NE MUNNE
 
 Tonny Mukwana (Kato) agamba nti ayagala  muganda we era basula ku kitanda kye kimu omu waggulu omulala wansi. 
 
Akeera ku makya n'anaaza munne ssaako okumwoleza n'okumutegeka, olumala n'amuzza mu kitanda kye olwo n'alinda maama waabwe okujja okubawa ekyenkya n'ekyemisana kyokka alina kumala kuva ku mudaala okudda eka. "Naye ate mu biseera by'okusoma mba siriiwo maama agenda naye mu katale ng'amusitudde kyokka azitowa. Nsaba kunnyambako mmufunire akagaali mwe nnyinza okumutambuliza', bwe yawanjagidde abazirakisa.