Gavumenti egulidde bassentebe ba disitulikiti ne bammeeya ba divizoni ne tawuni kanso mmotoka 196 ekika kya kabangali (Toyota Hilux Double Cabin) zibayambeko mu nkoa y'emirimu.
Katikkiro wa Uganda Robihan Nabbanja eyakiikiriddwa Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi mu kukwasa mmotoka zino eri abakawatibwako ku mukolo ogwabadde ku kisaawe e Kololo ku Lwokutaano yagambye nti zigendereddwa kwongera maanyi mu kulondoola enteekateeka za gavumenti mu bitundu .

“Mmotoka zino zirina kukozesebwa ku mirimu mitongole gyokka wabula singa wabaawo embeera eteewalika ku nsonga endala kino kirina okukolebwa mu buwandiike,” Magyezi bwe yagambye,
Mmotoka zino ezaawemmense obuwumbi bwa ssente za Uganda 34 n’obukadde 200 zaatekeddwaako obukwakkulizo obukambwe nga zirina kuvugibwaba baddereeva batongole.

Mmotoka zino bwe zinaasangibwa mu by’obufuzi zigenda kuboyebwa, baddereeva bagenda kuyita mu kutondekebwa mu nkozesa yaazo era nga zaateekeddwaako yinsuwa ya Comprehensive ya mwaka mulamba.
Mmotoka enkadde ze babaddee nazo baalagiuddwa okuzikwasa basipiika ba disitulikiti abagenda okusalawo okuziwa abakozi abalala abali ku mitendera egiddirira.