ALOWOOZA ku kintu ky’oyinza okwongera ku nnyumba n’oyingira omwaka ng’oli musanyufu, lowooza ku ‘Wall Paper tiles’ ku lw’okufuula amakaago ag’enjawulo. Wadde nga ‘tiles’ z’oku busenge zibaddewo, naye kati baazongeddemu ebirungo bwe baakoze ennene obulungi nga mpanvu, kyokka ng’empunda zeefaanaanyiriza ‘wall paper’. Kino kikoleddwa ku lw’okwongera okunyiriza ebisenge mu ng’eri y’obuwangaazi okukira wall paper. Tayiro ekika kino ze ziyitibwa ‘Wall paper tiles’.
Mariah Kiwagama, omukugu mu kuwunda amayumba okuva mu Casabella Homeware e 4th Street Industrial area n'e Bweyogerere agamba nti, ekika kya tayiro kino ekipya kisibibwa ku bisenge kwokka nga tezigenda wansi.
Zinyumira mu bifo byonna ng’ebinaabiro n’ebifo ebirala. Eky’enjawulo kiri nti, tayiro zino zibeera nnene za 120 ku 60cm ate nga tayiro ezaabulijjo zitera okubeera za 60
ku 30cm. Ekirala zibeerako ebifaananyi ebinene obulungi era atazimanyi ayinza okulowooza nti, wasibye ‘wall paper’. Omuntu yenna bw’akozesa tayiro za ‘wall paper’ omuntu bw’ajja mu nnyumba ategeererawo nti, gyakyadde bantu abatambula
n’ebiri ku mulembe.
Christine Tendo, owa Divine Landscapes agamba nti, ekika kino kinyumira mu bifo ebiwerako nga ebisenge omusulwa, effumbiro, ekinaabiro n’ebweru w’ennyumba.
Ebimuli eby’ebika eby’enjawulo ebiteekebwa mu tayiro zino biziyamba okukwatagana amangu n’ebintu ebirala ebiri mu nnyumba. Zirimu ekirungo ekiziyamba obutakosebwa mangu mbeera ya budde.
Tendo yagambye nti, ebika bya tayiro ebibaddewo bimaze akaseera era abantu babadde babimanyidde kye bava abayiiya baleeseeyo ekika ekipya.
Tayiro empya za bika bya njawulo nga mulimu eza; vintage, modern, classic,
bohemian, Arabic ne African. Kyokka kyetaagisa okufuna omukugu ategeera enzimbisa yaazo obulungi n’osobola okufuula ennyumba yo ey’ekirooto kyo.
Kyokka era okyasobola okukozesa langi ez’ebika eby’omulembe okunyiriza ennyumba. Ekisinga obukulu kwe kufuna omusiizi amanyi ky’akola n’akulondera langi eziriko era ezigendera ku nnyumba.
ENKIZO YA TAYIRO ZA ‘WALLPAPER
Tayiro zino teziyingiramu mazzi era zisobola okweyambisibwa mu bifo eby’obunnyogovu n’ebigendamu amazzi nga tewali kye weeraliikirira.
Eky’enjawulo nti, ne bwe ziba ziddugadde kyangu okuzirongoosa ne zitasigalako bikuyiro. Osiimuula busiimuuzi ng’okozesa amazzi ne sabbuuni ng’eddawo mu ndabika yaayo.
Ebifaananyi ebibeera ku tayiro zino bizirabisa bulungi era ekifaananyi kivaayo bulungi n’okiraba n’okitegeera. Okugeza, bw’oba nga wagenderera kimuli obeera okiraba bulungi nga kyesimbye.
Ng’oggyeeko okubeera ennene kyokka, era zibeera mu nkula ez’enjawulo nga si
za sikweya oba ‘rectangular’ zokka era nga zirimu ebifaananyi eby’enjawulo.
Tayiro ezimu zikolebwa nga ziwerako obuwanvu bwa ffuuti 10 ku 15 nga yonna yeekutte wamu era amaaso gatambula lumu awatali we gasikattira.
Olw’okuba nga tayiro za ‘wall paper’ zibeera nnene bwe kituuka mu kutundibwa
ziseerebwa okusinga tayiro ezaabulijjo.
Okuggyayo obulungi endabika y’ekisenge okugeza eddiiro, osobola okusiba tayiro ku ludda olumu olutuukirwako amaaso okugeza ekisenge okuli ttivvi
olwo awasigadde n’oteekawo ebirala.
ENJAWULO YA TAYIRO Z’OKU BISENGE NE ‘WALL PAPER’
l Tayiro zibeera mpangaazi okusinga ‘wall paper’ ezimala ekiseera ne zipeeruuka
oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvuko.
l Bwe kituuka ku bakozi aba ‘wall paper’ tebasaba ssente nnyingi kuba tezeetaaga
bukugu bwa maanyi.
l Obutafaanana nga ‘wall paper’ ezisobola okwonoonebwa amangu abaana nga
bazizannyirako, yo tayiro ebeera yeekutte bulungi ku kisenge.
l Kyokka bwe kituuka mu kukyusa ng’obadde oyagala okufuna ekipya, eyakozesa
‘wall paper’ ayanguyirwa okusinga eyakozesa tayiro ezitali nnyangu kukyusa.
l ‘Wall paper’ zikolebwa mu langi ez’enjawulo n’amabala agawera aganyuma
okutunulako okusinga tayiro.
l Bwe kituuka mu kulongoosa ate tayiro zirina enkizo kuba nnyangu okulongoosa
awaba waddugadde okusinga ‘wall paper