By’olina okwegendereza ddiifu y’emmotoka obutayonooneka

DDIIFU kiba kitundu kya ggiya bookisi omubeera akasuwa k’amannyo agasindika amaanyi ga yingini mu magulu ga mmotoka okusobola okutambula.

By’olina okwegendereza ddiifu y’emmotoka obutayonooneka
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Kidduka #Ddiifu #Makanika #Kukebera #Kwekebejja

DDIIFU kiba kitundu kya ggiya bookisi omubeera akasuwa k’amannyo agasindika amaanyi ga yingini mu magulu ga mmotoka okusobola okutambula.

Ddiifu okufaananako n’ebyuma bya mmotoka ebirala, zoonooneka oluvannyuma lw’okukola ekiseera ekiwanvu era n’enafuwa. Mu mbeera eno eba yeetaaga okukanika oba okufuna endala.

Makanika Nga Yeekebejja Ddiifu Y'emmotoka.

Makanika Nga Yeekebejja Ddiifu Y'emmotoka.

Ddiifu eyinza okwonooneka ng’obuzibu buvudde ku nsonga ez’enjawulo nga Joseph Ndugga makanika w’emmotoka mu Ndeba bw’annyonnyola.

Ku mmotoka ezisikira mu maaso ddiifu ebeera mu akizolo ya mu maaso ate eyo esikira amabega nayo ebeera ku akizolo y’emabega. Ku mmotoka ezisikira mu maaso n’emabega zibeera ne Ddiifu bbiri mu maaso n’emabega.

Ebisinga okutta Ddiifu
1. Ndugga agamba nti obutakola ssaavisi ya mmotoka mu budde ate mu butuufu bwayo kyonoona ddiifu.
2. Woyiro ekika kya cc agenda mu ddiifu alina okuba ng’alina waayisa n’akendeera mu bungi obwetaagisa amannyo okukyuka obulungi.
3 Okukozesa woyiro wa cc atali mutuufu oba omucupule kyonoona ddiifu.
4 Okuvuga mmotoka ng’ebigulu (driving shafts) nga byafa.