Endabirira y’emmotoka enkola empya gy’ogoberera obutakutawaanya

OKUVA emmotoka enkola empya bwe zaatandika okuyingira mu ggwanga, abantu bangi bazifunyeemu obuzibu olw’endabirira etali ku mutindo gwazo.

Endabirira y’emmotoka enkola empya gy’ogoberera obutakutawaanya
By Samuel Balagadde
Journalists @New Vision
#Agafa ku bidduka #Mmotoka

OKUVA emmotoka enkola empya bwe zaatandika okuyingira mu ggwanga, abantu bangi bazifunyeemu obuzibu olw’endabirira etali ku mutindo gwazo.

Drake Musiitwa nga musuubuzi wa mmotoka wansi w’ekibiina ekibagatta ekya Associated Motor Dealers -2015 ate nga mukugu mu by’ebidduka agamba nti obutafaananako na mmotoka enkola enkadde ezigumira embeera enzibu ,ezo enkola empya zirina endabirira ey’enjawulo era singa togituukiriza ekwonoonekako mangu.

 

ENDABIRIRA YA MMOTOKA ENKOLA EMPYA
l Ddereeva alina okusooka okumanya tekinologiya wa mmotoka mu nvuga yaayo n’amapeesa ag’enjawulo kiki kye gategeeza na ddi we galina okukozesebwa.

l Ezimu ku mmotoka ziba ne ttanka z’amafuta bbiri ng’olina okumanya ttanka ki gy’okozesa n’engeri gy’olina okudda ku ndala.

l Olina okwewala okunywa amafuta ku buli ssundiro kuba mmotoka ezimu tezikwatagana nago olw’omutindo.

l Mmotoka mu kugikola ssaaviisi yeetaaga abakugu abasobola okusoma n’okumanya ekika kya woyiro alina okugenda mu yingini.

l Woyiro bw’aba takwatagana ne bwaba mulungi yingini eba egenda kufa.

l Ekika kya Hydraulic agenda mu gearbox ateekwa okuba nga yooyo alambikiddwa ku ndagiriro nga bw’okozesa omulala eba agenda kufa.

l Amazzi agagenda mu Ladiyeeta oba muyite Coolant gateekwa okuba nga ga mutindo. 

l Okukoka ssaaviisi mu budde obulambikiddwa era n’okukyusa enkoba ez’enjawulo omuli fan belt ne timing belt, akasengejja amafuta n’aka woyiro, okukyusa ppulaaga buli luvannyuma lwa bbanga ggere.

l Yingini eteekwa okuba nga nnyonjo nga teyingiza bukyafu ne kalonda omulala.