Abasawo bakuwadde amagezi ku bika by'emmere gy'oyinza okulya enneekuyamba okuzuukusa obusimu obuvunaanyizibwa ku kuzaala n'ofuna olubuto.
Dr. Moses Muwanga omusawo ku ddwaaliro lya Entebbe Grade B, Hospital akuwa ebimu ku bika by'emmere ggwe ne balo bye muyinza okweyunira nga munoonya omwana.
1. Emmere eyamba okwongera ku bugimu bw'omukyala n'afuna olubuto. Eno erimu, enva endiirwa, zino zirye nnyo naddala ezirina langi etangaala.
Dr. Moses Muwanga
2. Emmere eva mu mata nga; omuzigo, yogati, amata n'ebirala birina okuliibwa mu butono. Osobola okufuna ekiriisa kya Calcium emisana okuva mu bintu nga broccoli n'emicungwa.
3. Ebibala; Lya era onywe ebikopo nga bisatu olunaku okukuuma omutindo omulungi ogw'okuzaala.
4. Ebyennyanja; Okulya ebyennyanja eby'ekika kyonna kiyamba ku mukyala ayagala okufuna olubuto kuba bino birimu ekirungo kya Omega 3 ekiyamba mu kugimusa omubiri g'omukyala n'okukuza omwana abeera munda.
O'wolubuto
5. Okumira obuweke obwa Vitamin obuyitibwa "Prenatal Vitamins" oba ebyongereza mu kugimusa omukyala. Kimanyiddwa nti abakyala abali embuto be balina okumira obuweke buno naye n'omukyala ayagala okufuna asobola okubumira. Oba okulya ebyo ebigattiriza ku bigimusa omukyala nga "Fertile Acid".
Kakasa nti olya emmere erimu ebiriisa byonna.
Comments
No Comment