Yasin Nasser ayongedde okunyweza engule za mmotoka 3

Avuganya ku y'e Tanzania (akulembedde n'obubonero 60) n'eya Afrika gy'akulembedde n'obubonero  78.

Yasin Nasser ng'ayiribya mmotoka.
By Nicholas Kalyango
Journalists @New Vision
#Yasin Nasser #Tanzania #NRC #Tanga Rally #Randeep Singh

 MUNNAYUGANDA omuvuzi wa mmotoka z'empaka, Yasin Nasser ayongedde okulaga nga bw'ali omwetegefu okuwangula engule 3 omwaka guno.

Yasin, avuganya ku ngule ya Uganda (NRC) ng'eno yagiwangula dda nga wakyabulayo empaka za mirundi 2 ku bubonero 498. Avuganya ku y'e Tanzania (akulembedde n'obubonero 60) n'eya Afrika gy'akulembedde n'obubonero  78.

Yasin Nasser.

Yasin Nasser.

Ku Ssande, Yasin yawangudde empaka za Tanga Rally e Tanzania n'ayongera okwenywereza ku ntikko era n'awera nti, "Wadde wakyabulayo empaka za mirundi 3, njagala engule y'e Tanzania ngimalirize ng'obudde bukyali nga bwe nnakola ku ya Uganda olwo obwanga mbusigaze ku ya Afrika yokka."

E Tanzania, Yasin yavugidde  essaawa 01:26:10. Yaddiriddwa Randeep Singh ne Manveer Birdi mu kyokusatu.