KISAAWE kya ddigi z’empaka n’emmotoka e Busiika ekya Extreme Adventure Park, kyabemberedde dda abawagizi nga banyumirwa empaka z’akafubutuko eza buli mwaka ‘Boxing Day Championship Sprint’ wakati mu kujjaguza Ssekukkulu.
Abavuzi b’emmotoka z’empaka 58 be beeriisa ebisooto n’enfuufu wakati mu kulwanira obubonero ku ngule y’ezaakafubutuko ey’omwaka guno ekomekkerezebwa leero (December 26, 2023).
Wabula ng’emmotoka z’empaka tezinayiriba wasooseewo abavuzi ba ddigi 40 mu mitendera egy’enjawulo okuli; abavuganyiza mu MX 50cc abakulembeddwa Abigail Katende, Ashraf Mbabazi mu MX 65cc, Jerome Mubiru atwala ba MX 85cc, Gift Malcom Ssebuguzi yeeyimbye mu ba MX 125cc, Waleed Omar MX 1 n’abalala.
Omar Mayanja ku bubonero (18), Jonas Kansiime Matayo (17), Byron Rugomoka (10) ne Jas Mangat (10) ababadde bakulembedde ku ngule y’ezaakafubutuko mu mutendera gwa bakafulu bonna tebeetabye mu za leero ekiyinza okuwa omukisa Joshua Muwanguzi ku bubonero (16) avuganyiza mu CRC ssinga amalira mu bataano abasooka okusitukira mu ngule ya kyampiyoni w’emitendera gyonna ow’ezaakafubutuko sizoni eno.
Wabula okubeerawo kwa kyampiyoni w’eza Boxing Day omwaka oguwedde, Yasin Nasser kutadde abavuzi bangi ku bunkenke olw’emmotoka ey’amaanyi Ford Fiesta R5 MK2 esinga zonna ezeetabyemu leero nti ayinza okuwangula olunaku.