KYAMPIYONI omukazi yekka ow’engule y’emmotoka z’empaka mu ggwanga (2011 ne 2018) Suzan Muwonge amanyiddwa nga ‘Super Lady’ atadde akaseko ku matama g’abawagizi be bw’alangiridde nga bw’akomyewo okubbinkana n’abasajja omwaka 2024.
Ono abadde yakoma okwetaba mu mmotoka z’empaka mu sizoni ya 2019 gye yavugakomya wakati n’atagimalaako n’okutuusa kati abawagizi babadde balina ennyonta y’okumulaba ng’akomawo.
Ku wiikendi yeetabye mu mpaka z’akafubutuko eziggalawo buli mwaka eza ‘Boxing Day Championship Sprint’ ezaayiribidde ku kisaawe Extreme Adventure Park e Busiika n’amalira mu kifo kya 8 ku bavuzi 58 bwe yaddukidde eddakiika 0:03:37.70.
Neebazannyo abawagizi bange ababadde bansubwa ebbanga lyonna kati emyaka ena (4) nga sikyavuga mmotoka za mpaka, njagala okubakakasa nti nkomyewo era sizoni etandika nga February 9 ne 11 e Mbarara, tugenda kubeera butoola.
Emmotoka ya Yassin Nasser
Okuvuganya
Ono w’akomeddewo nga baddereeva bangi bayingizzaawo ebyasi by’emmotoka empya eziri ku omutindo ekika kya Ford Fiesta ezongedde okuteekawo okuvuganya okw’amaanyi.
Muwonge mu Subaru Impreza N12B agamba nti tatidde kuba mmotoka ye ekyasobola okuvuganya wabula mu maaso asuubira okugula esingako amaanyi.
“Bwe nnali ntandika omuzannyo, nalina Mitsubish Evo 2, ne ngula Subaru N4, nazzaako Subaru N10 kati nina Subaru N12B, kitegeeza obudde bwonna tuyingizaawo endala,” Muwonge bwe yategeezezza.
Lwaki obadde weekwese
Mbadde seekwese naye omuzannyo guno gwa ssente nnyingi, nze ng’omukazi nayagala nsooke mpummulemu ate nga bwe nnoonya abavujjirizi ate n’okukwata bakazi bannange abalala bajje twetabe mu muzannyo guno era kati twatandikawo ekibiina kya ‘Women in motorsport’ twafunyeeyo Maureen Birwinyo naye kati avuga ate n’abalala bajja.
Nasser azzeemu okuziwangula
Ez’akafubutuko e Busiika zaawanguddwa Yasin Nasser mu Ford Fiesta R5 MK2 bwe yavugidde eddakiika 0:03:27.90, n’addirirwa Manveer Birdi (0:03:31.30), Duncan Mubiru (0:03:31.70), John Consta (0:03:32.30), Ronald Ssebuguzi (0:03:33.50) n’abalala.
Guno gwabadde mulundi gwakubiri ogw’omuddiring’anwa nga Nasser awangula ez’e Busiika. Omwaka oguwedde yaziwangulira ku ddakiika 0:03:35.44.