UMC Fort Portal Tourism City Rally 2023
Umar Dauda 1:40:41.14
Byron Rugomoka 1:41:15.48
Abasi Sebunnya 1:44:57.49
Peter Kalule 1:49:03.67
Fred Busuulwa Kitaka 1:49:51.81
AKASEEREZI kagoyezza abavuzi b’emmotoka z’empaka mu za UMC Fort Portal Tourism City Rally 2023 olw’enkuba efuddemba ekyawalirizza abategesi okusazaamu siteegi ezimu, abamu baawanduse ate abalala baatidde tebaavuze.
Ku lugendo olw’omugatte gwa kiromita 238 nga 150.46 ze zivuganyizibwako, siteegi ya Mukwano Karmali eyabadde eya Kiromita 13.29 yasaziddwaamu, abavuzi okuli; John Consta mu Ford Fiesta Proto, Ronald Ssebuguzi (Ford Fiesta Proto) ne Topher Kateera (Subaru Impreza N12) baawanduse.
Ate Ahmed Mohammed mu Subaru Impreza N14, Godfrey Kiyimba (Subaru Impreza), Issa Nyanzi (Subaru Impreza N10), Didas Matsiko (Subaru Impreza N14), Oscar Ntambi (Toyota Alteza) ne Ponsiano Lwakataka (Subaru Impreza N12) baatidde tebaalabiseeko wadde baasasula ez’okwewandiisa.
Oluvannyuma lw’ennaku bbiri ng’emmotoka ziyiriba mu kibuga Fort Portal, Umar Dauda mu Mitsubishi Evolution 9 ye yawangudde empaka zino omulundi ogwokubiri ogw’omuddiring’ana bwe yavugidde essaawa 1:40:41.14, yaddiriddwa kyampiyoni wa NRC 2022 Byron Rugomoka (1:41:15.48) n’abalala.
Zaabadde mpaka eza laawundi eyo 7 ezaggaddewo kalenda ku ngule y’emmotoka z’empaka sizoni eno eyawangulwa Yasin Nasser ku mugatte gwa bubonero 498.
Abaamazeeko
Omar Daud (Mitsubishi Evolution 9)
Abasi Sebunnya (Mitsubishi Evolution 10)
Patrick Kiyonga (Toyota FX)
Julius Ssemambo (Toyota FX)
Ohammed Bwete (Mitsubishi Evolution 9)
Rashid Makumbi (Subaru Impreza N12)
John Barrows ((Subaru Impreza N14)
Haruna Kataza (Subaru Impreza)
Ali Omar Bobo (Mitsubishi Evolution 4)
Byron Rugomoka (Mitsubishi Evolution 10)
Peter Kalule (Subaru Impreza Xv)
Joshua Muwanguzi (Subaru Impreza N12)
Faizal Kiyiira (Subaru Impreza Gc8)
Mustafa Mukasa (Subaru Impreza N12)
Ibrahim Lubega Pasuwa (Toyota Fx)
Fred Busuulwa Kitaka (Subaru Impreza)
Samuel Watendwa (Toyota FX)