Abavuzi b’emmotoka z’empaka batuuyana bwe zikala mu kibuga Fort Portal nga balwana buli omu okumalako sizoni mu kifo eky’oku mwanjo n’okukung’aanya obubonero obwegasa.
Leero Lwamukaaga (November 25, 2023) kalenda y’emmotoka z’empaka bw’ekomekkerezebwa sizoni eno n’empaka eza laawundi eyo 7 ezituumiddwa UMC Fort Portal Tourism City Rally 2023.
Ibrahim Lubega Pasuwa Alwanira Kifo Kyakubiri Ne Ronald Ssebuguzi
Abavuzi 20 be basigadde mu lwokaano oluvannyuma lwa Ponsiano Lwakataka mu Subaru Impreza N12, Godfrey Kiyimba mu Subaru Impreza n’abalala obutalabikako wadde nga baabadde beewandiisizza.
Engule y’emmotoka z’empaka sizoni eno yakakasibwa nga bwe yawangulwa Yasin Nasser eyaakamala okuteekawo ekyafaayo kya munnayuganda asoose okuwangula engule ya wano n’ebweru w’eggwanga.
Kino Nasser yakituseeko wiiki bbiri emabega bwe yalangiriddwa ku bwakyampiyoni bw’engule y’e Tanzania mu mmotoka z’empaka.
Ali Avuganya Joshua Muwanguzi.
Eya Uganda Nasser yagiwangula ebula empaka za mirundi ebiri oluvannyuma lw’okukung’aanya obubonero 498 ng’ali mu kifo ekyokubiri ne bw’awangula empaka ez’emirundi ebiri ezisembayo nga Nasser tavuze, yali takyasobola kuweza bubonero bwa 498.
Wabula, kati olutalo luli wakati wa Ronald Ssebuguzi ali mu kyokubiri (320) ne Ibrahim Lubega Pasuwa (308.5) abalwanira okufuna wiini mu z’e Fort Portal okwenywereza mu kyokubiri kw’assa abalala abalwanira ebifo ebiddirira.
Ez’e Fort Portal zikomekkerezebwa nkya ku Ssande era mmotoka zaakutolontoka omugatte gwa kkiromita 238 nga 150.46 ze zivuganyizibwako.