CMC Kabalega Hoima rally 2023
YASIN Nasser omuvuzi w’emmotoka z’empaka aweze okweyambisa eza CMC Kabalega Hoima Rally ku wiikendi eno okwetegekera eziri ku kalenda y’ensi yonna eza Safari Rally ezigenda okubeera e Kenya wakati wa June 21 ne 25.
Mu kiseera kino Nasser ne Ali Katumba amusomera maapu mu Ford Fiesta MK2 R5 bakulembedde kalenda za mirundi esatu okuli eya Uganda (NRC) ku bubonero 198, eya Tanzania ku bubonero 30 n’eya Afrika ku bubonero 54.
Ku Lwomukaaga ne Ssande wiiki eno, Bannayuganda abavuzi b’emmotoka z’empaka beeswanta kweriisa nfuufu mu za CMC Kabalega Hoima Rally 2023 ezigenda okubeera ez’omulundi ogwokusatu ku kalenda y’eggwanga (NRC) mu distulikiti y’e Hoima.
Yasin ng'ayogera.
Nasser, omulundi gwe yasemba okwetaba mu za Kabalega Hoima Rally yali 2019 bwe yamalira mu kyokuna ng’akyavuga Subaru GVB nga yavugira essaawa (2:01.45) era sizoni eyo ye yali kyampiyoni w’engule y’eggwanga (NRC) nga ye yokka gy’alina mu byafaayo.
“Sizoni eno bwe yali etandika nasalawo okwetaba mu buli mpaka n’ekigendererwa eky’okwongera okukakasa n’okuyiga mmotoka yange empya era tugenda mu z’e Hoima mu maanyi nga twagala kuzeeyambisa okuteekawo omutindo omulungi mu za Safari Rally e Kenya,” Nasser bwe yakakasizza.
Abavuzi 32 be baakakasiddwa okwetaba mu za Kabalega Hoima Rally omulundi guno.