USPA eronze ttiimu ya Golf ku buzannyi bw’omwezi gwa April

Bannamawulire abasaka ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya USPA balonze ttiimu y’abali wansi w’emyaka 18 eya Golf ku buzannyi bw’omwezi gwa April 2023.

USPA eronze ttiimu ya Golf ku buzannyi bw’omwezi gwa April
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Bannamawulire abasaka ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya USPA balonze ttiimu y’abali wansi w’emyaka 18 eya Golf ku buzannyi bw’omwezi gwa April 2023.

Ttiimu eno eyakutte ekyokubiri mu mpaka za Africa ezeetabiddwamu ttiimu z’eggwanga ez’abasajja 15 n’abakazi munaana yabaddemu abazannyi bana nga Uganda yayiseemu okugenda mu South Africa okuzannya ez’ensi yonna mu September omwaka guno.

Bano bamezze ttiimu ya Cricket ey’abakazi abaawangudde mu mpaka z’amawanga ataano ezaabadde e Lugogo n’eyitamu okugenda mu mpaka endala mu Namibia nazo ze yawangudde.

Aba Golf bawangulidde ku bobonero 195-190.

Mu birabo ebirala ebyassiddwawo aba USPA, omuvuzi w’eggaali Aziz Ssempijja y’awangudde eky’abazannyi abasinze okubbulula ttiimu bwe yeetabye mu mpaka za Rift Valley Championships e Kenya ng’amaanyi ge yataddemu gaasobozesezza Munnayuganda Charles Kagimu okuziwangula.

Ekirabo ky’omuzannyi eyasinze okwolesa talanta kigenze eri Juma Abiti owa ttimu ya golf ey’abali wansi w’emyaka 18 ng’amezze omusambi w’omupiira gw’abakazi mu ttiimu ya Kawempe Muslim, Shakirah Nyinagahirwa.

Akakiiko ka USPA ak’ekikugu nako kalonze ekitongole kya Uganda Prison Services olw’okuwagira ttiimu y’okubaka eyawangudde ekikopo kya liigi omwaka guno nga yawangudde emipiira mukaaga mu April.

Ye pulezidenti wa USPA, Al Sayed Moses Lubega ategeezezza nti basazeewo n’abavujjirizi okugatta ebijjulo bya Nile Special - USPA Gala ekya 2021 ne 2022 wadde nga baasooka kubyawula.

“Ebijjulo bigattiddwa era n’ennaku zikyusa okuva ku May 27. Olunaku olujja lujja kubategeezebwa kwe tusuubirira abazannyi abasoba mu 400,” Lubega bw’ategeezezza.

Pulezidenti w’akibiina ekigatta bannamawulire abawandiika aga Palamenti, Sam Ibanda Mugabi naye akyaliddeko aba USPA n’agamba nti agenda kufuba okulaba nti abawandiika ag’emizannyo bagenda kubakwanaganya n’ababaka ba Palamenti okutumbula emizannyo.