Ebyemizannyo

Muzzukulu wa Amin agenze awaga

TTIIMU y’eggwanga ey’ebikonde, 'The Bombers' eweze okukukumba emidaali mu mpaka za Afrika eza 'Zone 3 Africa Boxing Championship' ku mulundi gwayo ogusoose okuzeetabaamu.

Ringo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

TTIIMU y’eggwanga ey’ebikonde, 'The Bombers' eweze okukukumba emidaali mu mpaka za Afrika eza 'Zone 3 Africa Boxing Championship' ku mulundi gwayo ogusoose okuzeetabaamu.
Empaka zino zaakubeera mu kibuga Nairobi e Kenya wakati wa October 16 ne 25 ng’amawanga 13 ge gagenda okuzeetabamu.
The Bombers yagenze n’abazannyi 16 nga 5 bakazi. Bano kuliko ne Aziz Ringo, muzzukulu wa Idi Amin, eyaliko Pulezidenti wa Uganda. Azannyira mu buzito bwa 'heavy' nga guno gwe mulundi gwe ogusoose okubeera ku ttiimu y’eggwanga.
“Jjajjange Amin yakuutiranga abakubi b'ebikonde okukuba 'tonziriranga' baleme kubabba. Kino kye ng'enze okukola e Kenya, Ng'enda kukomawo n'omudaali gwa zaabu” Ringo bwe yaweze.

Tags: