Ssande mu CAF e Kitende
Vipers - Power Dynamos, 1:00
Ebisale; 30,000/, ne 20,000/-
ABAZANNYI ba Vipers 4 abaabadde ne Cranes eyazannye Botswana ne Algeria mu gya
World Cup, eragidde batuukire e Kitende beegatte ku bannaabwe abeetegekera Power Dynamos eya Zambia.
Omupiira guno gwa Ssande e Kitende mu gwoluzannya olusooka nga Vipers yeetaaga kuguwangula okutangaaza emikisa gy’okuzannya bibinja bya CAF Champions
League.
Akulira emirimu mu ttiimu eno, Simon Peter Njuba yategeezezza nti abazannyi baabwe okuli, Allan Okello, Rogers Torach, Hillary Mukundane ne Enock Ssebaggala baabakoledde enteekateeka okutuukira mu nkambi e Kitende okwegatta ku baannaabwe
batandikirewo okwetegekera Power Dynamos kuba gwa vvaawompitewo.
Cranes yabadde mu Algeria bannyinimu gye baagikubidde ggoolo 2-1 n’ewanduka mu
gisunsula abalizannya World Cup y’omwaka ogujja e Mexico, merika ne Canada.
“Omupiira guno gwa njawulo nnyo ku mirala kuba okuguwangula kituwa
emikisa egitutwala mu bibinja. Tulina okulwana nga bwe tusobola tugende e Zambia mu
gw’okudding’anga nga tulina we tutandikira,” Njuba bwe
yategeezezza n’agattako nti kya bulabe nnyo okulemwa omupiira oguli ewuwo n’osuubira nti gunaabeera mwangu ng’okyadde. Yayongeddeko nti wadde Okello
ne banne bagenda kuba bakoowu, balina okweyanjula mu nkambi kuba omulamwa gwa kuwangula mupiira guno era eggulo baabadde babalinze e Kitende. Vipers yawandulamu African Stars ey’e Namibia ku mugatte gwa ggoolo 2-0 ate Power Dynamos n’eggyamu
ASEC Mimosas eya Ivory Coast mu peneti.
Njuba yannyonnyodde nti ebbugumu eriri mu mupiira guno yaaludde okuliraba kuba abawagizi bajjumbidde nnyo okugula emijoozi ne tikiti z’okugulaba nga tebafuddeeyo oba bawagizi ba Vipers oba nedda. Power Dynamos esuubirwa okutuuka mu Uganda
ku Lwokutaano. Kapiteeni wa Vipers, Milton Karisa agamba nti
ttiimu yaabwe musota ogugenda okubojja Power Dynamos