EKITEEZAALA tekyala. Abaaguzannyako mu gy'e 80 ne 90, Godfrey Nyola ne Obadiah Ssemakula (kati omugenzi) abaana baabwe baayambye ttiimu zaabwe okuttunka ku fayinolo ya Caring Heart Football Tournament.
Bano baabadde mu mpaka z'essomero lya Caring Heart erisangibwa e Kaggala okumpi n'e Kakiri.
Nyola Junior nga ye mutabani wa Nyola, ye kapiteeni wa Manchester City ate Ssemakula Junior, mutabani wa Obadiah, ye kapiteeni wa Liverpool ezigenda okuzannya fayinolo.
Fayinolo eno egenda kuyindira mu Wakhisha Stadium ekisaawe kya Wakiso Giants ku Lwokutaano nga October 24. Mu ngeri y’emu, omukolo guno gugenda kukozesebwa nga oguggulawo empaka z’essomero lino ez’omwaka ogujja eza 'Caringheart Schools Premier League'. Mu fayinolo y’abawala, Aston Villa yaakuttunka ne Chelsea.