Ebyemizannyo

Abaliko obulemu banoonya bitoneAbaliko

BANNABYAMIZANNYO abaliko obulemu bacamudde abawagizi nga battunka mu mizannyo gy'eggwanga egiyindira mu kibuga Masaka. Bano battunse mu misinde, omupiira, ensero, okusitula obuzito, n'emirala.

Joshua Ainebyona owa Isingiro ng'adduka mmita 100.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Emisinde gya mmita 100 mu T12 & T13 mu bakazi
Brenda Nabwire (MUBS) 16.7
Apia Mavrice (MUBS) 22.4
Diana Muwanguzi (Kyambogo) 23.1
5000m T12 & T13
Desmond Opio (Gulu) 14.8
Robert Lwanga (Kyambogo) 18.6
John Ocira (Gulu) 19.1
Omupiira gwa bamuzibe
Kyambogo 1-0 MUBS
Gulu Univ 2-1 Kabale
BANNABYAMIZANNYO abaliko obulemu bacamudde abawagizi nga battunka mu mizannyo gy'eggwanga egiyindira mu kibuga Masaka. Bano battunse mu misinde, omupiira, ensero, okusitula obuzito, n'emirala.
Emizannyo gy'omwaka guno gyatambulidde ku mulamwa, "Okumalawo emiziziko n'okuzimba obuwanguzi mu baliko obulemu." Gyetabiddwaamu abavubuka abasukka mu 500 okuva mu disitulikiti 17.
Aba National Paralympic Committee, abategesi, baagambye nti emizannyo bagitunuulidde okuzuuliramu ebitone ebipya.
David Emong, eyawangula omudaali gw'ekikomo mu mizannyo gya Paralympics mu 2020 e Tokyo y'omu ku baddiifiri mu mizannyo gy'omwaka guno ng'ayambibwako omutendesi w'abaddusi Vincent Mutagubya. Masaka, ye yawangudde egyagguddewo n'emidaali 19 nga yaddiriddwa Kabaale ku 14.

Tags: