Abamu ku baliko obulemu abeetabye mu mizannyo
Makerere university 1-1 MUBS
Kyambogo university 1-5 Gulu university
Abasajja
Gulu university 8-0 Kyambogo university
Makerere university 1-1 MUBS
Sitting volleyball
Kampala shooters 3-2 super team
Super team 0-2 KCCA
Kampala shooters 2-0 Gulu
KCCA 2-0 Kampala shooters
Wheelchair Basketball 5x5
Gulu 34-8 KCCA
Emizannyo gyabaliko obulemu egya National disability sports gala gyayingidde olunaku olw'okusatu nga giyindira mu kibuga masaka. Mu gyazanyiddwa olunaku lw'eggulo Gulu university yakakkanye ku university ze kampala nezisiimulizaako ebitoomi mu muzannyo gwa goal ball owabawala nabalenzi.
Mu bawala Gulu yakubye kyambogo university 5-1 ate nebaddamu mu muzannyo ogwabalenzi nebatimpula 8-0. Yo makerere university yagudde maliri aga goolo 1-1 ne Mubs mu bawala nabalenzi. Mu sitting volley ball kampala shooters yakubye super team 3-2 neddamu nekuba Gulu 2-0. Yo KCCA yakubye super team 2-0 nekuba ne kampala shooters 2-0 Mu nsero eya 5x5 Gulu yakubye KCCA 34-08.
Abaliko obulemu nga battunka mu mupiira
Omuzanyo ogwasinze okukwata abantu omubabiro gwabadde wakati wabaliko obulemu abeemiggo nga battunka nabatalinako bulemu. President wa national paralympic committee Hon mpindi bumaali omupiira guno gwamucamudde neyeyama okwongera okusakira abaliko obulemu. Tiimu yabaliko obulemu yeyasoose okukulembera omuzannyo goolo 2-0 wabula nebabava emabega nebabakuba 6-5