Ebyemizannyo

Ttiimu z’e Bungereza ziswamye muteebi wa PSG

Musaayimuto wa PSG, Hugo Ekitike y’omu ku bazannyi abasoose okusongebwako ttiimu ez’enjawulo zimuleete aggumize olugoba oluteebi.

Ekitike owa PSG.
By: Farouk Lubega, Journalists @New Vision

TTIIMU za Premier zitandise okweswanta nga zaagala okuggumiza enkambi zaazo mu katale ka January.

Musaayimuto wa PSG, Hugo Ekitike y’omu ku bazannyi abasoose okusongebwako ttiimu ez’enjawulo zimuleete aggumize olugoba oluteebi.

Omuzannyi ono alemeddwa okufuna ennamba etandika olwa Lionel Messi, Kylian Mbappe ne Neymar okumusiikiriza. Sizoni eno yaakazannya emipiira mwenda gyokka naye agava e Bufalansa galaga nti ayagala kutambulamu.

Newcastle, West Ham ne Crystal Palace zaagala kumukansa mu January zongere amaanyi ku lugoba oluteebi.

Tags:
PSG
Hugo Ekitike
Lionel Messi
Kylian Mbappe
West Ham