Neymar bamuggyeeko emisango gy'enguzi

SSITA wa Brazil ne PSG, Neymar aggyiddwaako emisango gy'enguzi egibadde gimuvunaanibwa.

Neymar bamuggyeeko emisango gy'enguzi
NewVision Reporter
@NewVision

Mu 2013 nga Neymar ava mu Santos okugenda mu Barcelona, kigambibwa nti ddiiru ye yalimu ebyekuusa ku nguzi n'obufere.

Naye ku Lwokubiri, kkooti ya Spain yalangiridde nti Neymar aggyiddwaako emisango gino oluvannyuma lw'okukizuula nti buli kimu ekyali mu ndagaano ye kyali mu makubo matuufu.

Barcelona yamugula obukadde bwa pawundi 49 wabula omuwaabi wa gavumenti yali agamba bwali 71.