EKYA Sir Jim Ratcliffe okutwala egimu ku migabo mu ManU, kiyinza okugiremesa okuzannya empaka za Bulaaya sizoni ejja okusinziira ku mateeka amapya agafuga empaka zino.
Ratcliffe, anaatera okumaliriza ddiiru ya biriyooni 1.3 eza pawundi ne ffamire ya Glazer mwe bagenda okumuweera emigabo 25 ku kiraabu eno.
Emu ku ttiimu ya ManU ezannye sizoni eno
Wadde ng’abamu ku bawagizi basanyufu nti okujja kwe kugenda kuzza ttiimu engulu ng’eyita mukugula abazannyi abatuukiridde, wabula kyebatamanyi nti ayinza okubalemesa eza Bulaaya okuli Champions League.
Ratcliffe ne Ineos Group, kkampuni ye, be banannyini Nice ezannyira mu liigi ya Bufalansa gye bali mu kyokubiri n’obubonero 26 nga PSG (ekulembedde) ebasinga kamu.
Okusinziira ku mateeka ga UEFA amapya, ttiimu ezirina omugagga y’omu tezikyasobola kuzannya mu mpaka za Bulaaya omwaka gwe gumu singa zibeera ziyiseewo. Mu tteeka lino, wadde zombi zibeera zikiise, emalidde mu kifo kya waggulu yeekiika yokka.
Abazannyi ba Nice nga bajaganya.
Mu kino, singa ManU emalira mu kyokuna mu Premier ate Nice n’emalira mu kyokubiri oba ekyokusatu mu Bufalansa etteeka ligamba ManU tekiika mu Champions League. Singa ttiimu zombi zimalira mu kifo kye kimu nga kikiika, wano ManU y’ebeera egenda kuba Premier y’amaanyi ku liigi ya Bufalansa mu nsengeka za UEFA.
.Etteeka lino terikoma ku Champions League mwokka wabula ne mpaka za Bulaaya endala omuli Europa ne Europa Conference. Omukisa gyokka ttiimu ezirima omugagga omu gwe zisobola okuzannya mu mpaka za Bulaaya mu mwaka gwe gumu, guli ku emu kumalira mu bifo bya Champions League ate endala n’emalira mu Europa Conference League.
Omukisa omulala ManU gw’esobola okuzannya ne Nice mu mpaka za Bulaaya mu mwaka gwe gumu, Ineos Group, erina okutundako egimu ku migabo gy’erina mu Nice.
Etteeka lino terinyiga ManU yokka wabula ne mugya waayo Man City, limuzingiramu kuba bannyiniyo balina ne Girona eya liigi ya Spain. Girona y’ekulembedde e Spain ate nga ne Man City ekulembedde mu Premier. ManU eri mu kyamukaaga.