Saliba atabudde aba Arsenal

Sizoni ewedde, Saliba abadde mpagiruwaga mu kuyamba Arsenal okulwanira Premier era emipiira gy'ataazannya nga mulwadde (sizoni bwe yali eggwaako), ekikopo mwe baakisuulira.

Saliba atabudde aba Arsenal
NewVision Reporter
@NewVision
#arsenal #saliba #Arteta

ABAKUNGU ba Arsenal batandise okutuula amatiitiiri oluvannyuma lw'ebyokuteesa ku ndagaano empya ne William Saliba okugwa obutaka.

Saliba, 22, abuzaayo omwaka gumu ku ndagaano gy'alina ne Arsenal mw'afunira  pawundi 40,000 buli wiiki.

Sizoni ewedde, Saliba abadde mpagiruwaga mu kuyamba Arsenal okulwanira Premier era emipiira gy'ataazannya nga mulwadde (sizoni bwe yali eggwaako), ekikopo mwe baakisuulira.

Saliba

Saliba

Mu mipiira 27 Saliba gy'azannye mu Premier sizoni ewedde, bawangudde 21, babakubye 3 n'amaliri 3. Ateebye ggoolo 2, yeeteebye emu ate emipiira 11 agimazeeko ekisenge kye tekiteebeddwamu. Arsenal eyagala kumuwa ndagaano mpya mw'anaafunira pawundi 120,000 buli wiiki wabula kitunzi we agamba ku by'abakolera okwo kubeera kumuyisaamu maaso.

LWAKI SALIBA YEEREMYE

Alaba nga atasiimibwa; Enkambi ya Saliba egamba nti bwe kiba nga Bukayo Saka afuna pawundi 288,000 buli wiiki lwaki owaabwe amusinga okukola obulungi tazifuna!

Omutendesi tamwagala; Saliba alina okutya nti essaawa yonna Mikel Arteta ayinza okufuna omuzibizi gw'ayagala n'amuteeka ebbali. Agamba n'ekyokulinda endagaano ye esemberere okuggwaako, kakodyo ka butamwagala.

Nga Arteta yaakajja, yasooka kumuggya ku ttiimu eyazannya sizoni ya 2020/21 nga tannamusindika mu Nice ne Marseille ku looni. Singa Ben White ne Gabriel baasigala bakola bulungi, kyali kizibu okuzza Saliba wadde nga yali ayase mu Marseille.

Arteta ne Saliba

Arteta ne Saliba

Okusubwa ekikopo; Ekyabaddewo sizoni eno nga Man City ebalemesa ekikopo kyakubye bangi encukwe. Enkambi ya Saliba erina okulowooza nti wabeera waakuwangula bikopo yeetaaga ttiimu esinga Arsenal.

PSG EMWAGALA

Ebya Saliba okwecanga, PSG ebitunuulidde na liiso jjogi kuba eyagala kumutwala ng'egamba y'omu ku b'ebulamu okuwangula Champions League.