Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'okubaka mu nsi yonna ekya World Netball kiwadde Uganda nsalesale wa nga ennaku z’omwezi 12 omwezi ogujja ogwa June okuba nga erangiridde ttiimu eyabazannyi 15 egenda okukiikirira eggwanga mu mapka z’okubaka ez'ensi yonna eza Netball World Cup ez'okubeera mu South Africa omwaka guno.
Bino webigidde nga amawanga agawerako okuli Bungereza, New Zealand ne South Africa abategesi nga gaamala dda okulangirira ttiimu zaago .
Omutendesi wa She Cranes Fred Mugerwa ategeezeza nga ebbanga eribaweereddwa bwelimala nga ebbanga lino lyasigaza ajja kuba amaze bulungi okwetegereza abazannyi baateeka ku ttiimu eyenkomeredde.
Omuzibi wa She Cranes ng'akutte omupiira
Ttiimu y’eggwanga eya She Cranes ebadde ekyagenda mu maaso nokutendekebwa nga kubazannyi 27 abazanyira awaka abayitibwa, omutendesi Fred Mugerwa abadde tanaba kubaako noomu gwasalako okukendeeza ku namba yabazannyi egenda okuyingira enkambi mu Makati ga wiiki ejja.
Enkambi She Cranes esuubirwa okugikuba ku African Bible Society e Lubowa nga eno baakumalayo omwezi gumu n’ekitundu.
Empaka z’ensi yonna eza Netball World Cup zakubaawo mu July 28- 06 August mu Cape Town ekya South Africa nga Uganda eri mukibinja ekyokuna (D) omuli New Zealand, Trinidad and Tobago ne Singapore