Ssegawa awuttudde Omumerika n'awaga

“Gano gakyali mabaga kuba ng’enda kukuba Abazungu okutuusa nga bakkirizza era musubiire emisipi egiwera.”

Ssegawa (ku ddyo) ng'awumiza Villa.
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Boxing #Sula Ssegawa #World Boxing Council #WBC #Ruben Villa

NGA yaakamala okusitukira mu musipi gw’ensi yonna, Munnayuganda Sulaiman Segawa aggundira eng’uumi mu Amerika, alaalise okwongera okufutiza Abazungu.

Segawa, yasitukidde mu musipi gw’ensi yonna ogwa World Boxing Council (WBC) Silver Featherweight Title’ bwe yakubye Omumerika Ruben Villa. Olulwana luno lwabadde Palms Casino and Resort, Pearl Theater mu kibuga Las Vegas, Nevada mu Amerika nga yaluwangulidde ku bubonero 98-92, 97-93 ne 96-94 n’aleka bangi nga bamatidde.

“Ndi musanyufu olw’obuwanguzi buno. Omusipi guno gutegeeza kinene mu bulamu bwange era nguwaddeyo eri Bannayuganda bonna n’abawagizi bange okwetooloola ensi yonna,” Ssegawa bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, “Gano gakyali mabaga kuba ng’enda kukuba Abazungu okutuusa nga bakkirizza era musubiire emisipi egiwera.”.

Yazze mu lulwana luno ng’akwata kya 29 mu nsengeka za WBC sso nga wa 20 mu za Boxrec.

Segawa n'omuwala nga balaga omusipi gwe yawangudde.

Segawa n'omuwala nga balaga omusipi gwe yawangudde.

Ruben gwe yakubye yabadde akwata kisooka mu balina okuvuganya ku musipi guno mu za WBC nga waamwenda ku Boxrec.

Omusipi guno agugase ku gwa WBC-USA Featherweight title gwe yawangula omwaka oguwedde era gwamutadde ku ddaala lye limu ne Justin Jjuuko ‘The Destroyer’ ne Joey Vegas Lubega.

Mu ngeri y’emu, Wano asemberedde okuyingira oluse lwa John ‘The Beast’ Mugabi, Ayub Kalule, Conelius Boza Edwards, Kasim ‘The Dream’ Ouma ne Jackson Asiku, Bannayuganda abalala abawangudde ku misipi gy’ensi yonna ku mutendera ogusembayo waggulu.