MOSES Muhangi, pulezidenti w’ekibiina ekifuga ebikonde mu Uganda agobye abatendesi ba ttiimu y’eggwanga (The Bombers) n’asuula n’abakubi bataano ku mukaaga abeetaba mu mizannyo gya Commonwealth.
Kino kireeseewo obutakkaanya mu bannabikonde abamu abaagambye nti abakubi abasuuliddwa balina obumanyirivu okusinga ababasikidde kye bagamba nti kyakusubya Uganda okuwangula emidaali mu mpaka za Africa ezitandika nga July 25 e Cameroon. Mu nkyukakyuka ze yakoze, omutendesi Patrick Lihanda n’omumyuka we, Lawrence ‘Lora’ Kalyango baasikiziddwa Twaib Mayanja ne Ramadhan Seguya sso nga Mercy Mukankusi y’aweereddwa obutendesi bw’abakazi.
Lihanda yamufudde mumyuka we ow’ensonga z’ebyekikugu. Joshua Tukamuhebwa yekka ku baali mu mizannyo gya Commonwealth y’azziddwa ku ttiimu. Abazannyi abataano abaasuliddwa kuliko; Isaac Zebra Ssenyange Jr., Yusufu Nkobeza, Owen Kibira, Jonathan Kyobe ne Teddy Nakimuli bonna abaagenda mu Commonwealth omwaka oguwedde.
Muhangi okuyiwa ttiimu eno kiviiriddeko abamu ku baasuuliddwa okuyomba nga bawakanya ekyasaliddwaawo sso ng’abalala baakiwagidde. Bawolerezza Nakimuli eyawangulira Uganda omudaali ogw’ebikonde ogw’ekikomo gwokka ebikonde bye gwafuna mu Commonwealth.
Omukungu omulala yagambye nti, Nkobeza ne Kyobe abaawangula egy’ekikomo mu mpaka ze zimu (Africa Boxing Championship) e Mozambique nabo baabadde bagwana okugenda.
Wabula n’abamu ku batendesi ba kiraabu abataayagadde kwatuukirizibwa mannya baakubye ebituli mu ttiimu eyalondeddwa nga bagamba kikyamu okuyiwa abazannyi bonna. “Mu mpaka ennene nga zino weetaaga abazannyi ab'obumanyirivu ng’akalulu ne bwe kakusuula ku muzannyi omunene, tofuna bitengo. Ono yeebuuzizza nti, “Abaalonze ttiimu baasinzidde ku ki?”
ENGERI GYE BASIKIZIDDWA
Ssenyange Jr asikiziddwa Muzamir Ssemuddu mu buzito bwa light middle, Ukasha Matovu (welter) waakugenda mu kya Kibira, Kassim Mulungi (feather) asikidde Kyobe, Nkobeza (middle) asikiziddwa Ronald Okello, ate Nadia Najjemba (bantam) y’ali mu kya Nakimuli. Ku ky’okusuula abazannyi ab’obumanyirivu, Muhangi agamba omutindo gwabwe mu liigi gubadde gwa kibogwe.
“Singa bumanyirivu bwe bwali busalawo abawangula emidaali, Solomon Geko amaze ku ttiimu emyaka 10 ye yandibadde asinga okukumba emidaali. Ennamba ku ttiimu y’eggwanga za kulwanira, era tetujja kutwala bazannyi batali ku ffoomu olw’okuba balina obumanyirivu,” Muhangi bwe yagambye.
Muhangi ng'aliko by'annyonnyola.
ABATENDESI NABO BASULIDDWA
Olweyo lwa terwakomye ku bazannyi wabula lwatwaliddemu n'abatendesi. Patrick Lihanda omutendesi wa The Bombers omukulu, yasuuliddwa n’omumyuka we Lawrence Kalyango ‘Lora’.
Lihanda abadde yaakafulibwa omumyuka wa Muhangi ow’ebyekikugu. Beegattiddwaako Mercy Mukankusi omutendesi wa ttiimu y’abakyala nga baasikiddwa Twaib Mayanja ne Ramanthan Seguya. Waliwo abaategezezza Bukedde nti abatendesi abamu Muhangi yabasudde lwa kuba tebamuyiirawo mubiri bwe yali aleppuka n'emisango egyamutwaza mu e Luzira.
TTIIMU EGENDA
Abasajja; Tukamuhebwa (Light welter), Joseph Kalema (Minimum weight), Mulungi (Feather), Wasswa Ssali (Light weight), Matovu (welter), Muzamir Ssemuddu (Light Middle), Ronald Okello (Middle), Lawrence Kayiwa (Cruiser Weight), Mukiibi (Light Heavy), Solomon Geko (Heavy) ne James Baraka (Super Heavy).
Abakazi; Okufaananako abasajja Emily Nakalema ye mukyala yekka ali ku ttiimu eyali akiikiriddeko Uganda wabweru waayo. Yakiika e Senegal mu mpaka z’okusunsulamu abeetaba mu mizannyo gya Olympics egyabadde e Japan mu 2021. Grace Nankinga (L/Fly), Nadia Najjemba (bantam), Sharua Ndagire (feather), Zahara Nandawula (Light), Erina Namutebi (Light welter) ne Emily Nakalema (welter).