Shadir Musa ne David Ssemujju beesomye

Shadir Musa ne David Ssemujju bawera kusiguukulula baludde mu bikonde bya pulofeesono

Samali Ntambi (ku kkonno) ne David Ssemujju bwe bagenda okuttunka, mu kutongoza olulwana lwabwe. Wakati wa Sembuya owa 12 Sports Round.
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#MTN Arena #Shadir Musa #David Ssemujju #Professional Boxing #Olympics

ABAGGUNZI b’eng’uumi, Shadir Musa Bwogi ne David Ssemujju, beweze nga bwe bagenda okwongera okukaabya ‘bamutuula ku ngo’ (abakaddiyidde mu bikonde), babasiguukulule mu bikonde ebya pulofeesono. Babadde ku Onomo Hotel mu kutongoza kw’ennwaana zaabwe ez’okubeera ku MTN Arena e Lugogo nga July 23.

Shadir waakuttunka ne Henry Kasujja mu buzito bwa ‘middle’ ate Ssemujju bumwefuke ne Samali Ntambi mu buzito bwa ‘Super welter weight’ laawundi 6.

Ssemujju ne Shadir omwaka oguwedde baakikiridde Uganda mu mizannyo gya Olympics egyabadde e Japan, wabula  ku ntandikwa y’omwaka guno baalangiridde bwe bavudde mu bikonde by’abakyakayiga ne badda mu bya pulofeesono.

Luno lulwana lwabwe lwakubiri mu bikonde by’ensimbi ng’ennwaana azaasoose mu pulo bombi baaziwangudde.

Mu nnwaana endala, John Sserunjogi (kyampiyoni wa Afrika mu buzito bwa ‘middle’), wakuttunka ne Ignatius Onyango, Swalik Kisita attunke ne Ibra Mubiru mu ‘welter’, Isaac Ssebuufu muto (wa Ssemujju), ali ne Farahat Manilola, Saul Male eyakazibwaako erya ‘Saul ku Zai’ ayambalagane ne Kamada Ntege, n'endala.