KIU Titans egaludde okumegga JKL Dolphins

Ng’oggyeeko City Oilers abakulembedde n’obubonero 20 mu nsiike 10 nga tebakubiddwaamu, KIU Titans ye ttiimu ezitannakubwamu mirundi mingi okusinziira ku ndala eziri mu liigi eno.

Elvis Mutebi owa KIU (ku ddyo) ng'attunka ne Christopher Omanye.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#basketball #KIU Titans #UCU Canons #MTN Arena #City Oilers

Leero mu liigi ya basketball

A1 Challenge - Nabisunsa

Mu basajja;

KIU Titans - JKL Dolphins

TTIIMU ya Kampala International University mu basketball (KIU Titans) ekomyewo n’obusungu mu nsiike eggalawo ekitundu ekisooka ekya sizoni eno nga baagala wiini okuggya UCU Canons mu kyokubiri.

Bano ku nsiike 10 ze baakazannya baabadde bagenze 8 ez’omuddiring’anwa nga tebakubwamu okutuusa May 12, UCU Canons bwe yaggyeeko wiini ya (69-68) ekyakoze obubi Titans era leero mu MTN Arena bakomawo n’obusungu babumalire ku JKL Dolphins.

Ng’oggyeeko City Oilers abakulembedde n’obubonero 20 mu nsiike 10 nga tebakubiddwaamu, KIU Titans ye ttiimu ezitannakubwamu mirundi mingi okusinziira ku ndala eziri mu liigi eno.

Baakakubwa kati ensiike bbiri zokka okuli; City Oilers eyabaggyamu empewo ku ntandikwa ya sizoni ng’ebakuba (71-51) ate ne jjuuzi UCU mu bulumi obw’ekitalo yabawangudde n’enjawulo ya nsero emu yokka (69-68).

KIU eya Nasser Sserunjogi pulezidenti w’ekibiina ekifuga omuzannyo guno mu ggwanga ekya Federation of Uganda Basketball Association (FUBA), erina okwongera amaanyi mu kulonda libaawundi, ensiike esembyeyo UCU Canons mwe yasinga okugikubira.

Sizoni ewedde KIU, yamegga JKL Dolphins ensiike zombi (61-53) ne (84-56), omulundi guno JKL eyagala kukomya jjoogo lino nga newankubadde sizoni eno baakakubwa ensiike ssatu ezisembyeyo, UPDF yabakubye (68-54), Rezlife n’ebaddamu (57-55) ne Power Basketball Club.

City Oilers ekyakulembedde liigi ya basketball ku bubonero 20, UCU Canons (18), KIU Titans (18), Nam Blazers (17) n’endala.