Tibesigwa yeeweze okukeesa Omuswedi Attermo eng'uumi

MUNNAYUGANDA omuggunzi w’enguumi, Salimah Tibesigwa yeeweze okugolola munnansi wa Sweden Sandra Attermo ettumba

Tibesigwa yeeweze okukeesa Omuswedi Attermo eng'uumi
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Omuswedi Attermo #Tibesigwa Salimah

MUNNAYUGANDA omuggunzi w’enguumi, Salimah Tibesigwa yeeweze okugolola munnansi wa Sweden Sandra Attermo ettumba bwe bunaaba bubeefuka mu lulwana olusuubirwa okubaako vvaawo mpitewo.

Tibesigwa.

Tibesigwa.

Ababiri baakuttunka nga April 27 omwaka guno ku MTN Arena e Lugogo.

Olulwana luno lutegekeddwa okujjukira abaaliko abatendesi ba ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers, okuli Dick Katende ne Kent Musa.

Tibesigwa y’omu ku bawala abazze gawanye mu bikonde bya Uganda, agamba waakukuba ‘Omusweedi’ amwogeze n’oluzungu. Asabye abawagizi be okweyiwa mu bungi bamuwagire.

Ono mu kiseera kino atendekebwa Julius Mpongwe era mugumu nti obukodyo bw’amuwadde bumumala okufuna obuwanguzi ku Attermo.

 

Luno lugenda kuba lulwana lwa Tibesigwa lwa 8 nga ku 7 ezisembye awanguddeko 5 n’okukubwamu 2 zokka.

Olulwana lwe olukyasinze okumuteeka ku mmaapu lwabaddewo mwaka guwedde bwe yalidde matereke ne Catherine Nanziri eyamuwangulidde ku njawulo ya bubonero bubiri bwokka.

Nanziri eyamuwangudde ye mukyala yekka eyali akiikiridde Uganda mu mizannyo gya Olympics kye yakoze mu gyabadde e Japan mu 2021.