EKIBIINA ekitwala ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation (UBF) kisiimye ‘Jajja W’ebikonde’ Don King Samuel Lukanga olw’emirimu gy’akoledde omuzannyo guno wamu n’okugutumbula.
Sam 'don King' Lukanga Waakuweza Emyaka 30 Ng'avujjirira Ebikonde.
Moses Muhangi, Pulezidenti wa UBF asinzidde ku mukolo mwe batongolezza ebikujjuko by’okujaganya emyaka 30 Lukanga gy’amaze ng’avujjirira ebikonde n’ategeeza nga bwe bagenda okumubbulamu empaka n’okumuteeka mu tterekero lya bantu abalafuubanidde omuzannyo guno mu ngeri ey’obusukkulumu (Boxing Hall Of Fame).
Kuno Muhangi agasseeko ensimbi obukadde 5,000,000/= ezize ng’omuntu n’okusubiiza nti UBF egenda kuwaayo ssente endala ku Lw’ekibiina.
Lukanga ne bannabikonde baakukuza ebikujjuko bye eby’emyaka 30 ng’avujjirira ebikonde nga May 1 omwaka guno ku MTN Arena e Lugogo.
Muhangi Ng'annyonnyola.
Omukulo guno guluubiridde okusonderako ensimbi ezinaayamba okuzimba ggyimu ey’omulembe eya Lukanga Boxing Club esuubirwa okuwemmenta ensimbi eziri mu buwumbi.
Kuno era kugatiddwaako ennwana ezisoba mu 20 omuli abatendesi, abaggunzi b’ebikonde abaawummula n’abakyabizannya. Mu lulwana olw’olunaku, Lukanga waakuttunka ne Muhammed Mbidde, ssentebbe wa Kampala Boxing Club.
Lukanga yatandikawo kkiraabu ya Lukanga Boxing Club mu 1990 omuvudde kkiraabu endala 12 okuli Zebra Boxing Club ey’omugenzi Zebra Ssenyange, Bwaise Boxing Club, Makindye, Busabaala, Kyengera n’endala.
Kuno agasseeko okuvujjirira kkiraabu endala okuli COBAP, Gideon Boxing Club, Kalinabiri n’endala.