Liigi y'ebikonde by'eggwanga etandikidde mu ggiya

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League etandikidde mu bugumu.

Liigi y'ebikonde by'eggwanga etandikidde mu ggiya
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision

Liigi y’eggwanga ey’ebikonde eya UBF Boxing Champions League etandikidde mu bbugumu.

Sizoni ey’okubiri etandise mu kiro ekikeesezza leero ku Ssande ku MTN Arena e Lugogo n’ennwana 21.

Brenda Muduwa Ku Ddyo Ng'agyaganya Olw'okuwangula Maria Nankya Ku Kkono.

Brenda Muduwa Ku Ddyo Ng'agyaganya Olw'okuwangula Maria Nankya Ku Kkono.

Mu zimu ku nnwana ezibaddeko vvaawo mpiteewo Brolline ‘Stylist’ Bruce Kimbugwe owa COBAP Boxing Club akubye Richard Kasujja owa Lukanga Boxing Club ku bubonero 5-0. Ababadde battunkira mu buzito bwa Light Middle kiro 71.

Joshua Tukamuhebwa kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ amezze Innocent Amoko owa UPDF ku bubonero 5-0 mu buzito bwa Light welter. Wasswa Ssali owa Lukanga Boxing Club akubye Jimmy Adriko tonziriranga mu lawundi ey’okusatu mu buzito bwa ‘Light’ kiro 60.

Adam Jamdhali Ku Ddyo Ng'atwalira Ronnie Wandera Ku Kkono Enguumi.

Adam Jamdhali Ku Ddyo Ng'atwalira Ronnie Wandera Ku Kkono Enguumi.

Mu nnwana endala Ronald Gayita owa COBAP akubiddwa Shafic Mawanda owa Nakawa, Brenda Muduwa namegga Maria Nankya ku bubonero 3-2, Adam Jamdali owa UPDF nakuba Ronnie Wandera owa Zebra n’endala.

Moses Muhangi pulezidenti wa UBF ekibiina ekitwala ebikonde y’omu ku babaddewo liigi ng’etandika mw’ategereezza nti okuvuganya okw’amaanyi mu bazannyi kwakufuula sizoni eno eya vvaawo mpitewo. 

Wasswa Ssali Ku Ddyo Ng'awumiza Jimmy Adriko Ku Kkono Mu Liigi.

Wasswa Ssali Ku Ddyo Ng'awumiza Jimmy Adriko Ku Kkono Mu Liigi.