Portugal ne Switzerland baakwepima

MU mipiira gya World Cup egisembyeyo (9), gyonna Portugal eteebye. Leero, ettunka ne Switzerland nga balwana okwesogga oluzannya oluddako n'okutangaaza emikisa egituuka ku fayinolo.

Portugal ne Switzerland baakwepima
NewVision Reporter
@NewVision

Leero mu World Cup:

Portugal - Switzerland, 4:00

MU mipiira gya World Cup egisembyeyo (9), gyonna Portugal eteebye. Leero, ettunka ne Switzerland nga balwana okwesogga oluzannya oluddako n'okutangaaza emikisa egituuka ku fayinolo.

Batabani ba Fernando Santos bagamba tebagenda kudda mu nsobi ze baakola mu 2010 ne 2018 bwe baabakubira ku luzannya luno. Emirundi 2 (1966 ne 2006) gye baakulembera ekibinja, baatuuka ku semi.

Mu nsiike eno, Ronaldo mw'ayagalira ggoolo ye esooka mu byafaayo ku luzannya lw'okusirisizaawo.

SHAQIRI AGOBA LIKODI

Xherdan Shaqiri ayagala ggoolo emu yenkane munnansi munne Josef Hugi (ggoolo 6) ku bakyasinze okuteebera Switzerland mu World Cup. Mu kibinja, baakwata kyakubiri.

Login to begin your journey to our premium content