Kitende ne Amus bali mu nsiike muziggulawo empaka z'amasomero e Kenya

Empaka z'amassomero ga siniya eza FEASSA ziggulwawo olwaleero mu butongole e kakamega mu Kenya n'emizannyo egyenjawulo omuli omupiira ogwebigere, Volleyball ne Handball mu bisaawe eby'enjawulo.

Abazannyi ba Uganda nga bawanise ekikopo byebuvuddeko
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision
Omupiira
St. Mary's Kitende (UGA) ne E.P.M Mpanda (RWA)
Highway School (KEN) ne Amus College (UGA)
Buddo S.S (UGA) ne Butere Boys (KEN)
 
Volleyball
Mwaluphamba S.S (KEN) ne Standard High Zana (UGA)
St. Jerome S.S (UGA) ne Mugogwa S.S (TZ)
PSVF Huye (RWA) ne Bukedea Comprehensive (UGA)
Namugongo Voc. (UGA) ne St. Peters Mumias (KEN)
 
Handball
Wampeewo Ntake (UGA) ne Kilombero (TZ)
Adegi (RWA) ne Gombe S.S (UGA)
 
Empaka z'amassomero ga siniya eza FEASSA ziggulwawo olwaleero mu butongole e kakamega mu Kenya n'emizannyo egyenjawulo omuli omupiira ogwebigere, Volleyball ne Handball mu bisaawe eby'enjawulo.
 
Bannantameggwa b'empaka za FEASSA ez'omupiira ogwebigere ogwabalenzi aba Amus College batandika leero kaweefube waabwe owokweddiza ekikopo kyebawangula omwaka oguwedde bwebaakuba St. Mary's Kitende mu mpaka ezaali mu uganda omwaka oguwedde.
Abazannyi ba Uganda nga bawaga

Abazannyi ba Uganda nga bawaga

 
Amus college eggulawo ne bannantamegwga ba kenya aba Highway School mu kibinja ekisooka nga etunuulidde buwanguzi bwokka okutangaaza emikisa gyayo egyokuva mu kibinja kyebalimu nebannantameggwa b'empaka za uganda eza USSSA aba Buddo.
 
Mu kibinja eky'okubiri St. Mary's Kitende ekyasinze okuwangula empaka zomupiira ogwebigere eggulawo ne E.P.M Mpamba okuva e Rwanda nga nabo batunuulidde kufuna buwanguzi obusooka. kitende yasemba okuwangula ekikopo kino mu 2023 nga yakuba Amus mu kakodyo kokusimulagana peneti. ku luno bazze beeweze kweddiza mpaka zino zebaakatwala enfunda 12.
 
Ebibinja biri bibiri nga buli kimu kirimu tiimu musanvu nga tiimu bbiri ezikulembera zeezigenda okweyongerayo ku luzannya oluddirira olwakamalirizo.
Mu Volley ball Standard High School Zana erya Justus Mugisha baggulawo ne Mwaluphamba S.S eya Kenya ate nga bannayuganda abalala aba St. Jerome S.S batandika ne Mugogwa S.S okuva e Tanzania. Bukedea Comperehensive bannantameggwa bomwaka oguwedde mu volleyball batandika na PSVF Huye eya Rwanda ate nga yo Namugongo Vocational school etandika na St. Peters Mumias eya Kenya.
 
Mu Handball Wampewo Ntakke eya Uganda etandika na Kilombero S.S eya Tanzania ate nga yo Gombe S.S ejja kuba ettunka ne Adegi eya Rwanda.
Uganda yennantameggwa wempaka zino okumala emyaka ena egyomuddiringanwa nga nezomwaka oguwedde ezaali e Bukedi yeyaziwangula.