Owa P6 asuubizza okulula aba Ddigi

MUSAAYIMUTO Jamira Makumbi aweze masajja nga bw'agenda okukeesa banne ddigi mu mpaka za Afrika ezinaayindira ku Donnybrook Track e Harare ekya Zimbabwe wakati wa August 15-17 . 

Owa P6 asuubizza okulula aba Ddigi
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #P6 #Ddigi

MUSAAYIMUTO Jamira Makumbi aweze masajja nga bw'agenda okukeesa banne ddigi mu mpaka za Afrika ezinaayindira ku Donnybrook Track e Harare ekya Zimbabwe wakati wa August 15-17 . 

Makumbi 11, avugira mu mutendera ogwokutaano (MX65cc), asoma P6 mu Aga Khan Primary era y’omu ali ku ttiimu y’eggwanga (MX Cranes). Yeegomba muvuzi munne, Miguel Katende era nti olunaku lumu ayagala amumeggeko.

“Ndi mwetegefu okulwanira obubonero mu mpaka z'e Zimbabwe ate ntuuse ne Uganda ku bwakyampiyoni. Ekirooto kyange kya kuwangula ku Miguel olunaku olumu,” Makumbi, muwala wa Rashid Makumbi ne Ritah Nabatanzi
bw'agamba. 

Yagasseeko nti alwana nnyo okuswaza abantu abamunyooma.