Uganda ewangudde zzaabu mu gya gya Afrika mu Algeria

UGANDA yafundikidde bulungi emizannyo gya Afrika mu Algeria (ANOCA Games), bwe yawangudde omudaali ogwa zaabu n'egy'ekikomo esatu.

Uganda ewangudde zzaabu mu gya gya Afrika mu Algeria
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision
#Uganda #Buddo ss #Mizannyo

UGANDA yafundikidde bulungi emizannyo gya Afrika mu Algeria (ANOCA Games), bwe yawangudde omudaali ogwa zaabu n'egy'ekikomo esatu.

Omuddusi Baskaline Cherotwo yaleebezza banne mu mmita 1,500 okwegasse
Risper Chekwemboi mu kifo ekyokusatu.

Bano beegattiddwaako Buddo SS eyakubye Sudan (3-1) mu gw'okulwanira ekyokusatu mu mupiira. 

Ivory Coast ye yawangudde zaabu bwe yakubye Algeria (5-4) mu peneti. Uganda yafundikidde emizannyo n'emidaali 5 okuli zaabu (1), feeza (1) n'ekikomo (2). 

Emizannyo gino gyakozeseddwa okwetegekera egy'abavubuka (Youth Games) eginaabeera e Senegal omwaka ogujja.