Crystal Palace eraze ebituli mu Liverpool

CRYSTAL Palace eraze omutendesi wa Liverpool, Arne Slot ebituli by'alina okuziba bw'abeera waakweddizza Premier sizoni eno.

Crystal Palace eraze ebituli mu Liverpool
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Liverpool #Crystal Palace #Bituli

CRYSTAL Palace eraze omutendesi wa Liverpool, Arne Slot ebituli by'alina okuziba bw'abeera waakweddizza Premier sizoni eno.

 Eggulo, nga bali mu gwa Community Shield (oguggya abalabi ba Premier ekifu ku maaso), Crystal Palace yavudde mabega okugatta omupiira eddakiika 90 okuggwa maliri (2-2). Bwe baatuuse mu peneti, Palace yawangudde (3-2).

 

Mu bimu ku Slot by'alina okutandikirako kye kisenge ekyazannye ng'ekigayaavu. Jeremie Frimpong wadde yateebye ebiseera bingi obwedda bamukwata taliwo ate ne Milos Kerkez wingi ye baagisumbuye nnyo.

Amakkati ga Liverpool nago wadde gaakubye nnyo paasi, ezisinga obungi zaabadde nnyimpi era ezimu obwedda baziggwamu ne babakomyawo emisinde.

Crystal Palace, eyawangula FA Cup ng'ekubye Man City, yawangudde ekikopo kyayo ekyokubiri mu myezi 3 gyokka.