OLWAYANJUDDWA mu maaso g'abawagizi, omuteebi wa ManU omuggya Benjamin Sesko n'awera nga bw'azze ne ggoolo ezigenda okuzza ttiimu engulu.
Baamuguze obukadde bwa pawundi 73.7 okuva mu RB Leipzig.
Ku Lwomukaaga, ManU yakubye Fiorentina ku peneti 5-4 oluvannyuma lw'eddakiika 90 okuggwa (1-1) mu gy'omukwano. Ggoolo ya ManU yabadde yakyeteeba.