Omutendesi wa Crested Cranes asazeeko abazannyi 6

Ttiimu y'eggwanga ey'abakazi yeetegekera za Afrika ezigenda okubeera e Morocco

Sandra Kisakye (ku kkono), Aisha Nantongo ne Pheobe Banura.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#AWCON #CECAFA #Crested Cranes #Uganda #Morocco #Africa

2022 Africa Women Cup of Nations

OMUTENDESI  wa Crested Cranes, (ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi), George William Lutalo, asazeeko abazannyi mukaaga  nga beetegekera empaka za  Afrika (2022 Africa Women Cup of Nations).

Viola Namuddu (Makerere University), Harima Kanyago (Uganda Martyrs WFC), Miriam Ibunyu ne  Naome Nagadya (She Corporate), Resty Nanziri (Kampala Queens) ne Juliet Adeke (Kawempe Muslim), be baasaliddwaako.

Beegasse ku; Gloria Namakula, Jolly Kobusinge  ne Resty Kobusobozi  aba Tooro Queens, Salena Allibhai (KAA Gent - Belgium), Adrine Birungi (Gaspo FC - Kenya), Phoebe Banura (UCU Lady Cardinals),  Rhoda Nanziri ne Sharon Nadunga (Kawempe Muslim), Elizabeth Nakigozi (Uganda Martyrs), Favor Nambatya ne Susan Atim  (She Corporate),  Grace Aluka (Olila High) ne Zaina Namuleme (Kampala Queens), abaasalwako nga ttiimu egenda mu mpaka  CECAFA.

" Abazannyi bonna balungi, wabula tulina okusigaza omuwendo CAF gwetulagira, amannya tugaweeyo nga wiiki tennaggwaako," Lutalo bwe yagambye. 

Abazannyi 28 be basigadde mu nkambi ku wooteeri ya Cranes Paradise e Kisaasi, nga Lutalo yeetaagako 25 okwolekera Morocco awagenda okubeera eza Afrika wakati wa  July 2-23, 2022.

 Zaakwetabwamu amawanga 16, nga Uganda eri mu kibinja A omuli; Burkina Faso, Senegal ne Morocco.